Enzannya za liigi ya rugby ku Lwomukaaga:
Abasajja:
Rhino v Elgon Wolves – ssaawa 8:00 – Legends
Kobs v Pirates - Ssaawa 10 – Legends
Buffaloes v Victoria Sharks – ssaawa 10 – Kyadondo
Mongers v Kampani Eagles – ssaawa 10 – Ntebe
Hippos v Heathens – ssaawa 10:00 – Jinja Dam Waters
Walukuba v Warriors – ssaawa 10:00 – Abbey Dhaira Stadium Jinja
Abakazi:
Nile Rapids v Thunderbirds – Ssaawa 8:00 – Jinja Dam Waters
Black Pearls v She Wolves – ssaawa 10:00 – Kings Park Bweyogerere
Avengers v Ewes – ssaawa 8:00 – Ntebe
Kiraabu ya Kobs ekakasizza nga bw’egenda okufiirawo okulaba ng’ewangula ku Lwomukaaga bw’eneekyaza Black Pirates ku butaka ku kisaawe kya Legends e Lugogo mu luzannya lwa liigi ya Nile Special.
Omumyuka wa kapiteeni wa kiraabu eno kati eyitibwa KCB KOBs, Simon Makumbi y’ategeezezza bwati bwe babadde baakafuna omujoozi omupya ogwa sizoni era nga we bagenda okuzannyiramu sizoni eno.
Aba bbanka ya KCB leero (Lwakuna) bakwasizza abaddukanya kiraabu eno seeti z’emijoozi okuli ogw’awaka n’ogukyala bw’ebadde eyanjula obuvujjirizi bw’egitaddemu sizoni eno.
Akulira obwa kituunzi mu KCB Bank, Diana Kyomukama Ssempebwa y’akulidde okukwasa aba KCB KOBs seeti z’emijoozi bbiri awamu ne ceeke ba 195,000,000/= (Obukadde kikumi mu kyenda mu butaano) okugiddukanya sizoni eno.
Babadde ku kisaawe kya Legends mu maka ga KCB Kobs e Lugogo.
“Tugenda kuzannya nga n’omujoozi omupya bwe gutuwaga. Abantu babadde bayitirizza okutuyisaamu amaaso nga tuzannyira mu mujoozi ogutali gwa mulembe naye guno gutuweesa ekitiibwa,” Makumbi bwe yategeezezza.
Komukama agambye nti balinnyisizza ssente ze bateeka mu kiraabu eno nga baatandika n’obukadde 75 mu sizoni ya 2023.
“Tulabye nga kigwana okubongeza ssente okuva ku bukadde 75 okutuuka ku 195 basobole okusasulira ebimu ku byetaago bya kiraabu okuli okusasula abasawo, ab’akakiiko ak’ekikugu wamu n’abatendesi, okutumbula rugby mu masomero n’ebirala,” Komukama bw’ategeezezza.
Pulezidenti wa KCB Kobs Dr. Stone Luggya asiimye bbanka eno okuzza obuggya obuvujjirizi n’okubulinnyisa nti kigenda kwongera okukyusa ekifaananyi kyayo.
“Lino kkubo lya kutumbula kiraabu eno eya Kampala Old Boys (KOBs) rugby club eyatandikawo mu 1963. Tulina kati obusobozi okuddamu okuwangula ekikopo kya liigi omulundu ogwe 14 nga twasembye okukiwangula mu 2021,” Luggya bwe yategeezezza.
KCB KOBs yakyusizza omutendesi n’ereeta Timothy Mudhola n’asikira Davis Kiwalabye ku ndagaano ya mwaka gumu.KOBs sizoni ewedde yamalidde mu kifo kyakuna mu liigi.