Aba Ganda Boys basisinkanye be bagenda okusunsulamu okuyimba Ekitiibwa kya Buganda e Bungereza

Abaawomye omutwe mu nteekateeka z’okubunyisa Ekitiibwa kya Buganda, Abazira ba Ganda Boys basisinkanye abayimbi 80 abaasunsuddwa okuva mu nkumi n’enkumi abaazeetabamu.

Aba Ganda Boys basisinkanye be bagenda okusunsulamu okuyimba Ekitiibwa kya Buganda e Bungereza
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision
#Ganda Boys #Ekitiibwa kya Buganda #Bungereza #Kabaka #Buganda #Bukedde TV1 #Bukedde Olupapula #Mpaka #Daniel Ssewagudde Denis Mugagga

Abaawomye omutwe mu nteekateeka z’okubunyisa Ekitiibwa kya Buganda, Abazira ba Ganda Boys, okuli Daniel Ssewagudde ne Denis Mugagga basisinkanye abayimbi 80 abaasunsuddwa okuva mu nkumi n’enkumi abaazeetabamu nga mu bano mugenda kuggyibwamu abantu 60 abagenda okukola kkwaya ey’awamu okugenda e Bungereza okuyimba.

Ganda Boy's mu kifaananyi eky'awamu n'abafumbo abeetabye mu mpaka zino

Ganda Boy's mu kifaananyi eky'awamu n'abafumbo abeetabye mu mpaka zino

Abayimbi bano okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga Iganga, Lyantonde, Masaka, Kampala n’ewalala baakedde ku kitebe kyaffe mu Industrial mu Kampala leero  era buli omu n’aweebwa omukisa okulagako ky’asobola butereevu eri Ba Ganda Boys.

Waabaddewo n’akanyomero k’okubuuzibwa ebibuuzo okugeza baabuziddwa ku kigendererwa kya buli omu lwaki yeetaba mu kuyimba Ekitiibwa kya Buganda okwo gattako n’okubalayiza oba ddala bwe banaaba nga batwaliddwa e Bungereza ate tebaalemereyo ng’abantu abamu bwe batera okukola.Janate Nantume Omu Kubetabye Mu Kuyimba Ng'alako Kyalinawo

Janate Nantume Omu Kubetabye Mu Kuyimba Ng'alako Kyalinawo

Abantu 60 abagenda okutwalibwa e Bungereza okuva mu 80, bagenda kulangirirwa mu bwangu okuyita ku mikutu gya Vision Group okuli Bukedde Olupapula, Bukedde ttiivvi, Bukedde leediyo n’emirala.

Mu ngeri y’emu, ba Ganda boys baakwasizza akulira Olupapula lwa Bukedde, Michael Ssebbowa ekirabo ekimusiima ne Bukedde okutwaliza awamu olw’okubeera abasaale mu kubunyisa enjiri y’Okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.

Aba Jahova Shallom Akapera Nga Bayimba.

Aba Jahova Shallom Akapera Nga Bayimba.

Ssebbowa yabasiimye ba Ganda Boys olw’okwewaayo okulaba nga babunyisa enjiri eno okwo gattako enkolagana ennungi gye balina ne Bukedde n’ategeeza nti nga Bukedde yakwongera okuwagira enteekateeka zino wamu n’Obwakaba bwonna okutwaliza awamu.