Enteekateeka z’okusunsula ab’etaba mu mpaka z’okuyimba ekitiibwa kya Buganda ziri mu ggiya

ENTEEKATEEKA z’okusunsula ab’etaba mu mpaka z’okuyimba Ekitiibwa kya Buganda zituuse wezinyumira nga kati zituuse ku mutendera gw’okulondako abantu 60 abagenda okulinya ennyonyi okugenda e Bungereza.

Abayizi abavuganya ekitiibwa
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ENTEEKATEEKA z’okusunsula ab’etaba mu mpaka z’okuyimba Ekitiibwa kya Buganda zituuse wezinyumira nga kati zituuse ku mutendera gw’okulondako abantu 60 abagenda okulinya ennyonyi okugenda e Bungereza.

Abaakwata omumuli gw’enteekateeka zino, Abazira Daniel Ssewagudde ne Denis Mugagga bayite ba Ba Ganda Boys bakomyeewo okuva e Bungereza (UK) gye bawangaalira okusobola okwetaba butereevu mu kusunsula kw’omutendera guno okugenda okubeera wano ku kitebe kyaffe ku Industrial ku Mmande nga 27 omwezi guno.

Olukomyewo baatukidde ku ssomero lya Kampala Kindergarten association e Nakasero gye baasisinkanidde abayizi n’abatwala essomero lino bebaayimbye nabo Ekitiibwa kya Buganda n’ekigendererwa eky’okwongera okukibunyisa mu baana.

Beebazizza ababayambyeko mu kubunyisa engiri y’Ekitiibwa kya Buganda okuli Kabaka wa Buganda, David Namugala, Abalangira n’Abambejja, Visiong group evunaanyizibwa ne ku Bukedde n’abantu abalala bangi.

Akulira essomero lya Kampala Kindergarten association, Lucy Nanyanzi, asiimye ba Ganda Boys olw’okutwa omumuli gw’okubunyisa ekitiibwa kya Buganda nagamba nti kiyambye nnyo naddala mu baana abato okubamanyisa enono zabwe.

Grace Bayiga ku lwa Bukedde anyonyodde enteekateeka z’Empaka z’okuyimba ekitiibwa kya Buganda mwe bakwatagira ne Vision group we zituuse nagamba nti abantu 80 beebaasobodde okusunsulwa okuva mu nkumi ne nkumi z’abantu baawereza bu vidiyo bwabwe nga bano bagenda kujja wano ku kitebe kyaffe bagasimbaganne butereevu n’abasazi b’empaka nga ne ba Ganda Boys benyini w’ebali era ku bano abantu 60 bokka bebagenda okuyitako.

 Abawanguzi 60 abagenda okuyitako bakukolebwamu kwaaya eyamu etwalibwa e Bungereza bayimbire mu Royal Albert Hall, balambule era bafune omukisa okuyambibwako ba pulodyusa abali ku mutindo gw’ensi yonna.