NNAABAGEREKA wa Buganda, Sylvia Nagginda asiimye abantu ba Buganda ne Uganda yonna olw'okwenyigira mu mpaka z’okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.
Ayozaayozezza abantu 60, abaatuukirizza ebisaanyizo by’abasunsuzi ne bayitamu okulinnya ennyonyi okugenda e Bungereza okuyimba Ekitiibwa kya Buganda ku ntujjo egenda okubeera mu Royal Albert Hall.
Mugagga( Ku Kkono ) Ne Daniel Ssewagudde Mu Kifaananyi Eky'awamu Ne Nnaabagereka.
Nnaabagereka era yasiimye kkwaaya z'e Bulaaya zonna okwetooloola ensi ezaayimba ne zeetaba mu Kitiibwa kya Buganda omutendera ogwasooka z’agambye nti zaakola omulimu ogw’ettendo okuzibula abalala amaaso.
Yeebazizza bonna abalina kye bawaddeyo okuli kkampuni ya Vision Group, amakampuni amalala n’abantu ssekinnoomu okulabanga pulojekiti y’okuyimba Ekitiibwa kya Buganda eyimiridde era etambula.
Yasiimye enkwatagana eriwo wakati wa Vision group n’Abazira Daniel Ssewagudde ne Denis Mugagga ba Ganda Boys mu nteekateeka y'okubunyisa enjiri ya Buganda n'Ekitiibwa kya Buganda kye yagambye nti kizza Buganda ku ntikko.
Agambye nti Ekitiibwa kya Buganda kirimu enyingo y’okukuuma obuntu bulamu era n’akubirizza abantu okuyiga empisa za Buganda ez'obuntu bulamu oluyimba luno ze lwogerako.
Akubirizza abazadde n'abantu bonna gye bali gye bawangaalira okwettanira okubeera abantu balamu kubanga gwe musingo gwe balina mu nsi muno, ekibafuula Abaganda era Bannayuganda ab'enjawulo.
Era yeebazizza n’omubaka wa Bungereza mu Uganda, awamu n’Obwakabaka bwa Bungereza okwo gattako omukago gw’amawanga ga bulaaya (European Union) olw’ettofaali ezzito lye batadde mu nteekateeka eno.
Enteekateeka z’empaka z’okuyimba ekitiibwa kya Buganda zaatongozebwa nga 28 June 2023 nga zeetabwamu enkumi n’enkumi z’abantu abazze nga basunsula okutuuka ku 60 eryakakasiddwa okukola kkwaaya ey’awamu.
BaGanda Boy, baategeezezza nti abaasunsuddwamu bagenda kukiikira bonna abaayimba Ekitiibwa kya Buganda nga bano bagenda kulikondinga Ekitiibwa kya Buganda mu Abby Studio mu kibuga London, mu Bungereza.