Aba Ganda boys basiimiddwa olw'okutumbula emmwanyi ya Uganda ebweru

ABAZIRA ba Ganda Boys, Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde, bacamude abakungu bwe babayimbidde oluyimba lw’ Ekitiibwa kya Buganda, ne batenderezebwa olw'okutumbula emmwaanyi ya Uganda nga bakozesa ekitone ne byebakola.

Aba Ganda Boys nga babuuza ku Mulangira Wasajja
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABAZIRA ba Ganda Boys, Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde, bacamude abakungu bwe babayimbidde oluyimba lw’ Ekitiibwa kya Buganda, ne batenderezebwa olw'okutumbula emmwaanyi ya Uganda nga bakozesa ekitone ne byebakola.

Omubaka w’omukago gw’amawanga ga Bulaaya (European Union) mu Uganda, Jan Sadek, yagambye nti ba Baganda boys bakola omulimu gwa muwendo okugatta Uganda ne Bungereza nga bayita mu bitone okwo gattako okutumbula emmwanyi ya Uganda nga bakozesa ebyo bye bakolamu gamba nga GF coffee ne Abazira chocolate.

Aba Ganda Boys nga babuuza ku mugagga Sudhir

Aba Ganda Boys nga babuuza ku mugagga Sudhir

Bino byabaddewo ku kkawungezi ak’enjawulo omubaka w’omukago gw’amawanga ga Bulaaya mu Uganda, Jan Sadek, kweyakyalizza kamisona avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu mukago guno, Virjinijus Sinkevicius, mu maka g’e Kololo.

Akawungezi k’etabiddwako abakungu ab’enjawulo okw’abadde omuwandiisi wa pulezidenti, Dr. Kenneth Omona eyakiikiridde katikkiro wa Uganda, Robina Nabbanja, omumyuka wa siipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa, ba ambasada ab’enjawulo, ba minisita, omulangira David Kintu Wasajja n’abanene abalala bangi.

Dr. Omona eyakiikiridde, kattikiro Robina Nabbanja omukulu yasiimye kamisona olw’omukisa gweyawadde Uganda bweyazze okuccaalako wano era naalaga essuubi nti obugenyi buno bwakuvaamu ebibala eby'omuwendo bingi.

Bo ba Ganda Boys Daniel Ssewagudde ne Denis Mugagga, baalaze essanyu olw'okubanga baafunye omukisa okuyimba ekitiibwa kya Buganda ku mukolo guno ggaggadde kye bagambye nti kiraga nti obubaka obuli mu luyimba lwa Buganda bwamugaso nnyo.