LEERO ekitongole kya Fly Jet Express batongoza ennyonyi ya Daalo Airlines ku kisaawe ky'enyonyi Entebbe.
Marvin kagoro akulira bakitunzi ba airport agambye nti kya ssanyu okulaba abantu abaleeta enyonyi mu gwanga nga kino kyakukendeza ku traffic akwaata olw'obungi bw'abantu abatambula okufuluma n'okuyingira egwanga.
Ennyonyi ya Daalo Airlines
Enyonyi Eno yakutambula nga Eva mugwanga okuda e kenya mu kibuga Nairobi n'okukomawo.
Abantu bangi abatambula ensangi zino nga okusinzira ku mwezi oguwedde ogwa August abantu abatambulide mu nyonyi Eno basoba mu 260,000