POLIISI n’amagye bazinzeeko n’okwaza amaka g’omuyimbi Patrick Mulwana eyeeyita Alien Skin e Makindye mu Kizungu ne basangayo ebissi n’ebintu ebirala bye bagenda okukozesa ng’obujulizi ku fayiro y’omuzinyi w’amazina agambibwa okukubibwa basajja ba Alien Skin ekyamuviirako okufa.
Alien Skin ne basajja be ab’oku lusegere Poliisi teyabasanzeewo, era Bukedde yakitegeddeko nti, omuyiggo gw’okubakwata gwongeddwaamu amaanyi. Wabula waliwo abamu ku baleebeesi be basatu abaakwatiddwa.
Obusaale Obwasangiddwayo.
Amyuka akulira bambega ba poliisi e Nateete Onesimus Mwesigwa ye yakuliddemu okwaza mu nfo ya Alien Skin ne bazuulayo ebissi bye baagenze nabyo.
Ekikwekweto kino kyakulungudde essaawa nga 10 nnamba, nga kyatandise ku ssaawa 11 ez’oku makya ne bamaliriza ku ssaawa nga mwenda ez’akawungeezi. Ekifo kyonna kyasaliddwaako nga tewali akkirizibwa kufuluma wadde okuyingira.
Ebimu ku bintu ebyaggyiddwaayo, mulimu obusaale, ebyuma ebimenya ekkufulu ez’amaanyi, ebiso eby’enjawulo, n’ennamba z’emmotoka okuli eya Congo, nnamba 5010AG19, ssaako ey’eggwanga lya South Sudan.
Alien (wakati) lwe yali ne Bebe ne Chamili ewa Pulezidenti Museveni gye buvuddeko.
Era Bukedde yakitegeddeko nti, Poliisi yasanze omusaayi ogukaze ku lubalaza era kiteeberezebwa nti, gwandiba gwe gwava mu Namuwaya nga bamukuba. Poliisi yalese ennyumba eno egisibyeko akaguwa okugyetooloola, era mu kiseera kino ekyali mu mikono gya Poliisi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Mwesigwa yagambye nti, ebintu bingi ebyaggyiddwa mu nnyumba ya Alien Skin era bagenda kubitwala mu labalatole ya gavumenti byongere okwekebejjebwa.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala Patrick Onyango yagambye nti, Poliisi ekyanoonyereza ku fayiro y’okuttibwa kwa Top Dancer, era abantu abali mu kunoonyerezebwako mu kiseera kino kuliko; Alien Skin yennyini ne basajja be okuli; Babu, Commander Mudogo, Ibra Kabadiya, ne Mijagulo, nga we bwazibidde eggulo nga bakyaliira ku nsiko.
Basajja Ba Alien Skin Abaakwatiddwa.
Okusinziira ku katambi akatambula ku mikutu gya Social media, akaakwatibwa nga Namuwaya tannafa, kalaga Namuwaya ng’agalamidde wansi ku sseminti, ng’aliko b’annyonnyola nti, musajja wa Alien Babu yamusanga mu Ndeeba n’amukwata, n’amutwala ku kitebe kya Alien Skin kye bayita Fangone Forest ekisangibwa e Makindye mu Kizungu ne batandika okumukuba mu lubuto ne ku nsingo ne bamubbako n’essimu ye eya Samsung, kw’ossa omuzindaalo gwe.
Bannayuganda ab’enjawulo omuli n’omuyimbi Jose Chameleone bavuddeyo ne bateeka akazito ku poliisi, ebeeko ky’ekola ku ffujjo ery’ekika kino, eriyinza okuvaamu okutting’ana okw’amaanyi wakati w’ebibinja eby’enjawulo.
Wabula bino byonna ebyogerwa ye Alien Skin abyegaana, ng’agamba nti, empalana eziri mu ndongo ze zibbulukukira mu bintu nga bino, naye ye si mumenyi wa mateeka.