Amawulire

Putin asensebudde ekibuga Kyiv

PUTIN ayongedde okukaawa, bw’asindise ennyonyi ennwanyi ezeevuga zokka eziwera 500, n’asesebbula ekibuga kya Ukraine ekikulu Kyiv, mu lulumba olw’amaanyi ennyo mu kiro ekyakeesezza eggulo.

Putin asensebudde ekibuga Kyiv
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

PUTIN ayongedde okukaawa, bw’asindise ennyonyi ennwanyi ezeevuga zokka eziwera 500, n’asesebbula ekibuga kya Ukraine ekikulu Kyiv, mu lulumba olw’amaanyi ennyo mu kiro ekyakeesezza eggulo.


Eggwanga lya Poland eriri ku muliraano ne Ukraine, nalyo lyawanudde mu bbanga ennyonyi za Russia ezaabadde zitambulira mu bwengula bwalyo, eggulo ku Ssande nga zigenda e Ukraine okukuba enfo ez’enjawulo.


Amagye ga Poland mu kiwandiiko kye gaafulumizza, gaagambye nti, gajja kugenda mu maaso n’okwetaasa nga gakuba ennyonyi yonna eva e Russia ne yeetantala okuyingira obwengula bwa Poland.


Pulezidenti wa Ukraine, Volodymir Zelensky ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Telegram yagambye nti, ku nnyonyi ennwaanyi 500 Russia yayongeddeko mizayiro 40, n’akuba ekibuga Kyiv, ne mufiiramu abantu ba bulijjo bana n’abalala 10 ne bagenda n’ebisago eby’amaanyi.


Mmeeya w’ekibuga Kyiv Vitali Klitschko, yagambye nti, mu bulumbaganyi buno, Russia yakubye ebifo 20 okwetooloola ekibuga Kyiv, nga mwe muli ennyumba ezisulwamu abantu ba bulijjo, eddwaaliro, n’essomero lya nassale, ekikontana n’amateeka g’ensi yonna ag’entalo.


Obulumbaganyi buno we bujjidde, nga Minisita wa Russia ow’ensonga ez’ebweru Sergey Lavrov yaakamala okwegaana nga Russia bw’eterina nteekateeka eggulawo lutalo n’amawanga agali mu mukago gwa NATO, naye go bwe ganaagezaako okugirumba nga bwe bawulira, bajja kwanukuza muliro.


Okuva ku ntandikwa y’omwezi guno, Russia ezze esindika ennyonyi zaayo ennwaanyi ne ziyita mu bwengula bw’ensi bwe batalima kambugu, okuli Estonia, Polland ne Romania. 


Kino kyawaliriza Bungereza wiiki ewedde okusindika ennyonyi zaayo ennwaanyi ekika kya Typhoon FGR Mk4, mu Poland okwetegekera olutalo singa Putin atandika okulumba amawanga ga NATO nga bwe kisuubirwa.


Putin yatandika olutalo ne Ukraine mu February wa 2022, ng'avunaana Ukraine okwagala okuyingira omukago gwa NATO, Putin ky’awakanyiza ddala, kubanga tayagala mawanga bwe batalima kambugu kumusemberera kumpi awo, batuuke n'okuteekayo enkambi z'amagye.

Tags:
Putin
Bunaayira
Bulaaya