ABASERIKALE ba poliisi abagambibwa okuyuza ebipande by'omu ku beesimbyewo n'okukola efujjo ku bawagizi be , bamaze okweyanjulira bakama baabwe ku poliisi ez'enjawulo.
Kino kiddiridde obutambi obw'enjawulo mu Kampala n'e Mbale, okufuluma, nga bulaga abamu ku baserikale ba poliisi , ng'omu ayuza ekipande n'omudumu gw'emmundu, so ng'ate mu katambi akalala, ng'omuserikale aggiddeyo abawagizi pisito.
Oluvannyuma , poliisi yafulumizza ekiwandiiko nga kiraga nti okunoonyereza ku baserikale bano, kukolebwa, okuzuula enneeyisa yaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti abaserikale bano bonna, bamaze okweyanjula n'okuggyibwako sitatimenti era ne baggulwako emisango, nga bwe balinda ekiddako.