PULEZIDENTI wa America, Donald Trump ayise olukiiko olw’amangu olwa ba Genero be bonna abasoba mu 800 omuli n’abaduumira ankambi za Amerika eziri mu nsi 90 ku lukalu lwa Bulaaya, Asia, Afrika ne Austrialia.
Olukiiko luno olutadde ensi ku bunkenke olw’obutamanya nsonga ki eruyisizza, Trump yayise mu Minisita w’entalo, Peter Hegseth okuluyita nga lugenda kutuula ku kitebe ky’amagye ag’enkambi y’amagye ag’oku mazzi esangibwa e Quantico, mu Virginia.
Amawulire aga Washington Post, gategeezezza nti, olukiiko luno lusuubirwa okwetabwamu ba Genero ab’amaanyi mu America n’ebweru waayo, abasoba mu 800 nga kiteeberezebwa Trump alina ebiragiro by’agenda okuwa gattako n’okuteesa ku pulaani empya ey’okutegekamu ebyokwerinda mu kiseera nga China yaakamala okwolesa eby’okulwanyisa eby’omutawaana ebyakanze ensi.
Olukiiko luno we lujjidde nga Trump yaakamala okukyusa erinnya lya Minisitule y’ebyokwerinda (Department of Defence), n’agituuma minisitule y’entalo (Department of war).
Minisitule eno mu biseera bya ssematalo owookubiri yayitibwanga minisitule y’entalo, kyokka oluvannyuma lw’olutalo luno lyakyusibwa ne bagituuma minisitule y’ebyokwerinda, nga bagamba nti, America erina kumalawo ntalo so si kuzikumamu muliro.
Omwogezi wa minisitule y’ebyokerinda mu America, Sean Parnell yagambye nti, Hegseth agenda kwogerako eri abaduuumizi b’amagye ne ba Genero mu lukiiko luno, kyokka by’agenda okwogerako teyabyogedde.
Abatunuulizi b’ensonga z’ebyokwerinda mu nsi yonna, bagamba nti, olukiiko luno luteekwa okwogera ku by’okulwanyisa China bye yayolesezza gye buvuddeko, omuli ne mizayiro ezikanyuga bbomu za nyukiriya, okuyita mu bbanga, ku ttaka ne ku mazzi.
Kigambibwa nti, eby’okulwanyisa bino byakanga nnyo America, kati nga nayo eyagala kulaba engeri gy’eyinza okwenywezaamu mu by’okwerinda, kubanga America erowooza nti, eby’okulwanyisa ebyo China by’ekola ebikolera America ne mikwano gyayo.
Kuno kw’ossa omukwano gwa Russia, China, North Korea ne Iran ogwongera okunywera buli olukya, ate nga bonna baagala kukendeeza ku maanyi America g’erina ku lukalu lw’ensi yonna.
Omukutu gwa Reuters gugamba nti, waliwo obweraliikirivu mu America, olw’engeri abantu gye bongedde okunafuwa, ng’obunafu buno butuuse ne mu magye, ng’abantu tebakyalowooza ku ggwanga lyabwe okulikuumira waggulu, wabula balowooza ku ebyo ebitono ebibakwatako era bye balwanirira ng’ebyekikula ky’abantu.
Okusobola okumalawo embeera eno, Hegseth alina pulaani gye yatuuma “Warrior Ethos’, ng’ayagala okukomyawo obukambwe n’omutima ogw’okulwanirira n’okufiiririra America, gw’agamba nti, guserebye nnyo.
Abajaasi ayagala baddemu okukambuwala, bakomyewo ekitiibwa kya America mu by’entalo n’okulwana mu nsi yonna, era kisuubirwa nti, ba Genero agenda kubawa pulaani ye eno, bongere okuginnyikiza mu bajaasi ab’amadaala aga wansi, okusobola okukuuma America nga tewunyikamu.
Hegseth ne Trump we bayitidde olukiiko luno, nga bamaze okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu baduumizi b’amagye, nga mu kiseera kino baakafuumuula abajaasi abakulu abasoba mu 10.