OMULANGIRA Kassim Nakibinge alabudde abantu mu Buganda okukomya okwetundako ettaka lyabwe nga mufunamu ssente nti kyebakola kikyamu balina kulikolerako basobole okugaggawala
“Mukome okwetundako ettaka kubanga kyabugagga kyemulina okukolerako musobole okufuna ssente mugaggawaale . Oyo akuwa ssente lwaki azeggyako nga ze zisinga omugaaso n'atwala kyalowooza nti sikye kisingako , mulekere ssenteze nawe osigaze ettaka lyo .olikolereko ebintu ebyenjawulo “ Omulangira bweyagambye
Fahad Kasagga omu ku batabani b'omugenzi ng'ayogera eri abantu
Yabyogedde mu kusoma edduuwa ye yali mukwanogwe omugenzi Hajji Abaas Kasagga e Nawango -Bulo – Butambala kumukolo ogwasitudde ebikonge ebynjawulo
Yagambye nti abantu bangi bagenze batunda ettaka ne batuka n’okutundiramu ebigya okuli bakadde babwe , mulaba nge kyangu naye abafu bano bakolima n’osanga eyatunda talina kyalikozemu ate nga takyalina yadde ennusu .
Yayongedde okulkuttira abantu okuva mu kusagirira wabula bakole ekiraamo amangu ddala nga tebanafa kitaase enjawukana mu bantu bemulese mu bintu byamwe . Yagambye nti buli lw’oleka ffamire mu bbanga kivaamu kulwaagana gye bigwera balooya na balamuzi be bafunye mu by’obugagga byo .
Abasiraamu nga boogera ku dduwa
Wabula okusooka Musa Sserwadda muto w’omugenzi nga yeyakulembeddemu abaffamire , yasoose okuloopera Mulangira nga abaffamire abamu bwe bavaayo ne basalasalamu ettaka lye kika kyabwe okwazikiibwa Hajji Kasagga mu nnaku mbale nga yakatebwa mu ttaka ekikolwa ekyalimkyenyamiza mu bulamu bwa bulijjo .
Ate Fahad Kasagga omu ku batabani b’omugenzi yasimye omukwano abantu gwe balaze kitabwe nayongerako nti yakola kinene mu AFRONASA. Yasabye abantu abenjawulo okubegattako basobole okugenda mu maaso n’okulaakulanya pulojekiti za kitabwe zeyatandikawo mu kitundu omuli okulabirira abakadde n’abatesobola ,
Ate Alhajji Twaha Kawaasi ormumyuka wa katikkiro ow’okubiri asabye abantu ba Buganda okunyweza ennyiriri mu bika byabwe nga kyakuyambako unyweza obwakabaka.
Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi yasabye abantu okuyiiora ku Busiramu nga batemateema ebintu by’omugenzi ne babigana mu ngeri ennungamu
Sheikh Ali Kajubi nga ye ssentebe wa Western region yasabye bakulembeze banabwe abali babeyawulako okweteeza nga babegateko okusinga okubeera nkubo nga batankana gye baggwa