Bya Juliet Lukwago
Paapa Francis yaweereza Bwannamukulu w’Ekigo ky’Omutuukirivu Matia Mulumba e Nakawuka mu ssaza lya Kampala, Fr. Edward Mukasa Ssebukoola omukisa gwa Paapa bwe yabadde yajaguza emyaka 25 mu Busaserdooti.
Omukisa guno ogwateereddwako omukono omubaka wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco ogwamukwasiddwa Episcopal Vicar wa Entebbe, Fr. Gerald Mpanju ku mukolo ku Eklezia e Nakawuka ku Lwomukaaga.
Omukisa guno ogwabaddeko ebigambo ebiyoozayooza Fr. Ssebukoola oluvannyuma lw'Ekitambiro kya Mmisa ye eyakulembeddemu, Msgr. Expedicto Magembe n'abeera omuyigiriza w’olunaku.
Fr. Edward Mukasa Ssebukoola Nga Nnyina Immaculate Nabbuto (ggomesi Emmyufu) Ng'amukwasa Ebirabo Bya Mmisa.
Ku Kkono, Fr. Francis Kituuma, Fr. Edward Mukasa Ssebukoola N’omukisa Gwe Yafunye Okuva Eri Paapa Francis, Episcopal Vicar W’e Ntebe Vicariate, Fr. Gerald Mpanju Ne Fr. Claudius Sseggonja .
Abamu Ku Basiista Abeetabye Ku Mukolo Gwa Fr. Edward Mukasa Ssebukoola Ng' Ajaguza Emyaka 25 Mu Busaserdooti .
Emu Ku Keeki Fr. Edward Ssebukoola Gye Yasaze Ku Mukolo Gwe Ogw'emyaka 25 Mu Busaserdooti .
Fr. Edward Mukasa Ssebukoola Ne Nnyina Immaculate Nabbuto (gomesi Eya Orange) N’abooluganda Lwe Abalala.
Abamu Ku Bakristu Abeetabye Ku Mu Kolo Gwa Fr. Edward Mukasa Ssebukoola Ku Kigo E Nakawuka Ku Lwomukaaga.
Episcopal Vicar Wa Entebbe Vicariate, Fr. Gerald Mpanju Ng'akwasa Fr. Edward Mukasa Ssebukoola Omukisa Ogwavudde Ewa Paapa Francis .
Mmisa yeetabiddwaamu Abasaserdooti bangi nga n'abamu ku be yasoma nabo.
Mu bano kwabaddeko : Fr. Gerald Mpanju, Rector owa Mount. Zion Bukalango, Msgr. Expedicto Magembe, Fr. Claudias Ssewava Ssengonja, Fr. Herman Ssuuna, Fr. Emmanuel Kimbowa (Sr).
Era omukolo gwe gumu kwetabiddwako Ssentebe wa disulikiti ya Wakiso, Matia Lwanga Bwanika, eyali omubaka wa Busiro South, Joseph Balikuddembe, abaami ba Kabaka n’abalala.
Mu baweereza Fr. Ssebukoola obubaka mwe mwabadde:Ssaabasumba wa Kampala, Paul Ssemogerere, Kalidinaali Emmanuel Wamala, Katikiro Charles Peter Mayiga, omutaka David Marvin Ssemppma owa Kasimba, Fr Ssebukoola mwasibuka, Msgr Lawrence Ssemusu ku lw’abaana enzaalwa okuva e Nakawuka, bayizi banne n’abalala bangi.
Fr. Ssebukoola yazaalibwa nga September 2, 1965, bazadde be omugenzi Bernard Ssessimba ne Immaculate Nabbuto abeera e Namugongo.
Obusaserdooti Fr. Ssebukoola yafuna nga August 9,1997 obwa muweebwa Kalidinaali Emmanuel Wamala.
Bwe yabadde ayogera Fr. Ssebukoola yeebazizza bonna abalina kye bakoze ku mukolo gwe ogw’emyaka 25 mu Busaserdooti.
Yategezezza nti okugenda mu Seminaliyo yayambibwa omugenzi Msgr. Joseph Ssebayigga.
“Mu myaka gyange gino 25 mu buweereza bwange mubaddemu abantu bangi abannyabye ne nsobola okutuukkiriza obuweereza bwange, mwebale, mbasuubiza okwongera okubasabiranga,” bwe yagambye.
Ebigo byakoleddemu
Fr. Ssebukoola akoledde Kkonge nga omukyuka wa Bwannamukulu (1997-2000), Kiziba-Masuulita Parish (2000-2006), Namayumba (2006-2012), Kyengera (2012-2014), Ggoli okumala omwaka gumu, Ggombe Parish ate n’e Nakawuka Parish.