PAAPA Leo XIV ayingidde olubiri lwa Paapa olutongole Paapa Francis gwe yasikidde,
lwe yagaana okusulamu olw’amatiribona agaalusukka ng’ate ye ayagala kwerumya nga Francis owa Assisi.
Olubiri oluyitibwa Apostolic Palace ky’oyinza okuvvuunula nti, ‘olubiri lw’abatume’ luli
wakati mu Vatican okuliraana Klezia ya St. Peter’s Basilica. Ekizimbe ekyo kyazimbwa
mu kyasa ky'e 15 gwe mwaka gwa 1401 gy’emyaka nga 600 egiyise.
Wadde lwazimbwa mu bbanga eryo, Bapaapa bazze balusulamu nga bwe baluvaamu oba okukyusa ebisenge n’ava mu kino n’asula mu kirala mu lubiri lwe lumu nga
tebalunywereramu. Luliko ebisenge bingi n’ebizimbe (apartments). Paapa Pius X ye yasooka okusula mu kisenge ekitongole eky’Obwapaapa n’ebisenge byakyo ebirala n’abikozesa nga bwe kirina okubeera mu mwaka gwa 1903. Atwalibwa nga Paapa eyasooka okulusulamu nga olubiri olutongole.
Ekisenge Paapa mw’asula mu lubiri luno bwe kyabaddeN kiggulwa ku Ssande, Paapa Leo XIV atandike okulukozesa, ate naye yeewuunyisizza abantu bwe yagambye nti;
‘Olubiri lwa maanyi nnyo. Lulaga embeera y’Obwakabaka kyokka ng’ate eby’obuweereza bwa Katonda bwe tulimu, bwa bulijjo.’ Wano bangi baatidde nti
ayinza okukola nga Paapa Francis n’asalawo okusula mu kisulo ekirala. Wabula
abamuli ku lusegere bagamba nti, engeri gye yakkirizza edda okulusulamu, alabika okukola nga Bapaapa abalala abaasulanga mu bisenge ebitali bya maanyi okutuusa Paapa Pius X lwe yasula mu bisenge ebituufu.
AMATIRIBONA AGALULIMU
Akalombolombo k’okuggala ekisenge kya Paapa ng’afudde nga bwe kyakoleddwa Camerlengo nga Francis afudde ne kiggulwa nga Leo azze, emu ku nsonga kwe kaava
kwe kukuuma ebintu ebikulu ebikirimu.
Si kisenge kyokka wabula olubiri lwonna lwe lulimu ebiwandiiko bya Klezia
eby’ekyama n’ebitali bya kyama nnyo kyokka nga bikulu eri abakkiriza.
Eyo abawabuzi ba Paapa ab’olukiiko lwa College of Cardinals gye bamusanga okumuyitiramu ebikulu naye bw’aba aliko by’abagamba eby’ekyama ennyo
gy’abasisinkana kuba tewali muntu wa bulijjo agendayo.
Abalambuzi eyo tebalinnyayo kigere kyabwe babeera bannaddiini bokka ab’eddaala eddene oba abayambi Bapaapa abaalayira okukuuma ebyama bya Klezia obulamu
bwabwe bwonna.
Lulimu Klezia ya Paapa mw’asomera mmisa eyiye n’okwegayirira. Mulimu etterekero
ly’ebyafaayo bya Klezia. Mulimu etterekereo ly'ebiwandiiko. Lulimu ofiisi ezimu ku zisinga amaanyi mu Vatican mu kusalawo ebisembayo. Ekisenge ebiwandiiko bya
Paapa ebimanyiddwa abantu n’ebitannamanyika gye bikuumirwa. Waliyo ebisenge Paapa gy’asisinkanira Bapulezidenti b’amawanga ab’amaanyi mu kyama. Lulimu eddwaaliro.
OLUBIRI OLULALA PAAPA MW’AWUMMULIRAKO
Paapa alina olubiri olulala mw’awummulirako mu budde bw’ekyeya (summer) oluyitibwa Castel Gandolfo. Luno nalwo lwa dda, lwatandika okuzimbibwa mu kyasa ky'e 12 ne lutongozebwa mu mwaka gwa 1608. Paapa abeerayo yekka na bayambi be okuggyako ng’omugenyi akkiriziddwa nti, eyo gy’ajja okumulabira, abantu ba bulijjo tebalinnyayo.
Wabula Paapa Francis yalese akoze ekyafaayo nti ku mbiri z’Obwapaapa zombi
teyagendayo.
Bwe yalondebwa mu 2013 n’agaana okusula mu lubiri olukulu okuli ne luno lwe
mpandiiseeko, yalulekera abantu era babadde balulambula ekitabangawo mu myaka
egisoba mu 400 gye lumaze.
EBISAMAALIRIZA EBIRI MU LUBIRI LUNO
Omukutu gwa wikipedia gulaga ebisamaaliriza mu lubiri luno abantu bye baali
tebalabangako okuli;
l Ebimuli bya Belvedere Gardens ebitobeke obulungi nga buli kika ekirimu kirina amakulu n’emigaso gyakyo mu byeddiini, ebyenkulaakulana, tekinologiya n’ebirala
by’osobola okulowoozaako.
l Olengera bulungi ennyanja Albano n’ebigiriko.
l Olengera bulungi ekibuga Roma ne Vatican yennyini.Omulambuzi aweebwa ekyuma
kya ‘Telescope’ n’alengera obusolya bw’amayumba ag’edda mu kibuga obwatandikibwawo Michelangelo ne bakugu banne mu by’okubumba n’okusiiga ebifaananyi.
Comments
No Comment