Kalidinaali Turkson akunze BannayugandaKalidinaali Bannayuganda

KALIDINAALI enzaalwa y’e Ghana kyokka nga mu kiseera kino ye Cansala wa akademe ya Paapa eya Pontifical Academy of Sciences, Peter Turkson asabye Bannayuganda okwongera amaanyi mu kukuuma obutonde bw’ensi batangire embeera embi, ebirwadderwadde n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde.

Kalidinaali Turkson akunze BannayugandaKalidinaali Bannayuganda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KALIDINAALI enzaalwa y’e Ghana kyokka nga mu kiseera kino ye Cansala wa akademe ya Paapa eya Pontifical Academy of Sciences, Peter Turkson asabye Bannayuganda okwongera amaanyi mu kukuuma obutonde bw’ensi batangire embeera embi, ebirwadderwadde n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde.
Yasiimye Abeepiskoopi ba Uganda olwa kaweefube gwe batadde mu kukuuma obutonde bw’ensi, n’abasaba bongeremu amaanyi ate bafeeyo okumanya Abeepiskoopi bannaabwe mu nsi endala bye bakola.
“Ensi eno ffenna ge maka mwe tuwangaalira, awo nno tugalabirire bulungi ate tukolagane n’abo abalwanirira obutonde bw’ensi,” bwe yategeezezza.
Yabadde aggulawo olukung’aana olukwata ku kukuuma obutonde bw’ensi, Laudato Si Africa Conference, oluyindira mu Bethany Land Institute e Nandere, mu ggombolola y’e Nyimbwa mu Luweero ku Lwokusatu.
Kalidinaali Turkson yategeezezza nti buli omu avunaanyizibwa okukuuma obutonde bw’ensi, n’anenya abamala gatema emiti n’okwonoona ennyanja n’emigga, n’abamala gayiikuula ebyobugagga eby’omu ttaka.
Pulezidenti wa Bethany Land Institute Uganda, Fr. Polof. Emmanuel Katongole yategeezezza nti olukung’aana luno lwategekeddwa okusobozesa abalulimu okwebuulirira ku birowoozo bya Paapa Francis ku kukuuma obutonde bw’ensi bye yassa mu bbaluwa ye, (Laudato Si) gye yawandiika emyaka 10 egiyise. Baakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri ebbaluwa eno gy’erina okussibwa mu nkola mu Africa n’okujjukira n’essanyu obukulembeze bwe obw’ettendo.
Ssaabasumba Paulo Ssemogerere yasiimye Fr. Polof. Katongole ne Bethany Land Institute, n’abagabirizi b’obuyambi olw’omulimu gwe bakoze, okuzzaawo ekibira ky’e Nandere