Ente 200 zikwatiddwa mu bikwekweto bya Kalusu e Rakai ne Kyotera

ABAKUNGU  okuva mu Minisitule y'obutebenkevu nga bayambibwako amagye ga UPDF bakutte ente ezisoba mu 200 ezireeteddwa mu Uganda okuva mu ggwanga lya Tanzania wakati mukulwanyisa ekirwadde kya Kalusu mu bitundu bye Rakai ne Kyotera.

Ente 200 zikwatiddwa mu bikwekweto bya Kalusu e Rakai ne Kyotera
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

ABAKUNGU  okuva mu Minisitule y'obutebenkevu nga bayambibwako amagye ga UPDF bakutte ente ezisoba mu 200 ezireeteddwa mu Uganda okuva mu ggwanga lya Tanzania wakati mukulwanyisa ekirwadde kya Kalusu mu bitundu bye Rakai ne Kyotera.

Nt 2

Nt 2

Ekikwekweto kino kikulembeddwamu  Steven Asiimwe ng'ali wamu n'Amagye ga UPDF okuva mu nkambi ye Sangobay era ng'ente ezikwatiddwa zisangiddwa mu bitundu bye e Kamuli mu gombolola ye Kibanda mu disitulikiti ye Rakai ate endala e Sangobay mu Mutukula Town Council e Kyotera nga zibadde zigenda kutikkibwa ku mmotokka okutwalibwa mu katale e Kampala!