Mufti Mubajje afulumizza ebyavudde mu bibuuzo by'Obusiraamu n'alabula ku ntalo

EBIBUUZO by’Obusiramu ku Uganda Moslem Supreme Council eby’ekibiina ky’omusanvu bifulumye MuftiMufti Shaban Ramathan Mubajje n’alabula ku ntalo n’obusiwuufu bw’empisa obyeyongedde mu ddiini yaabwe nti bisaana kukomezebwa..

Mufti Mubajje afulumizza ebyavudde mu bibuuzo by'Obusiraamu n'alabula ku ntalo
By Hannington Nkalubo
Journalists @New Vision
#Uganda Moslem Supreme Council #Mufti Ramadhan Mubajje #PLE #Kampalamukadde

EBIBUUZO by’Obusiramu ku Uganda Moslem Supreme Council eby’ekibiina ky’omusanvu bifulumye Muft Shaban Ramathan Mubajje n’alabula ku ntalo n’obusiwuufu bw’empisa obyeyongedde mu ddiini yaabwe nti bisaana kukomezebwa..

Ebibuuzo ebiyitibwa Islamic Primary Leaving Examination [ IPLE] yabifulumizza ggulo ku Lwokutaano ku kitebe ky’Obusiramu e Kampalamukadde n’asiima abakulira amasomero agawera 291 n’abayizi 5,311 abaakoze ebibuuzo ate ne bayitira waggulu wadde waabaddewo abayizi 68 abaagudde.

Abayizi babiri abaasinze mu ggwanga lyonna kuliko; Raibah Nantege okuva mu ssomero lya Ibun Hamis Islamic Secondery School ne Sulaiman Namutete Kajoba okuva mu ssomero lya Lufuka Quality Islamic Primary School.

Abalala abaafunye obubonero buna kuliko Imran Kintu, Abdul Rahim Kalungi, Husein Kasambula, Abdul Magid Ubaida, Sulait Kaleebu, Adam Abdul Aziz Abdul Rahman , Yahya Mwanje Balintuma, Sudaish Rahman Abdul , Shamram Kawuna, Shukurat Nannono , Sumayya Namara Ahmed, Sumayyah Ayub Bint Abdallah, Haniffah Nakatudde, Ashraf Kakomo Sharifah, Hindu Norah Kayinza, Zakiya Nabatanzi ne Nuurah Mutazindwa.

Amasomero 10 agaasinze mu ggwanga kuliko; Sumayyah International School , Lufuka Quality Islamic School e Ndejje eryasinze mu Wakiso, Ibun Hamis Islamic Secondary School eryasinze e Luweero, , SAHARA Islamic Primary School eryasinze mu Kampala, Hasanah Junior School , Al-bayan Quaran Memorisation school Centre , Sulainah Sofrah Primary School , A.K ISLAMIC Junior School Omar Ibnelkhattab Islamic Centre , Al Furquaan Primary School ne Sweet Valley Islamic Nursery and P/S .

Mufti Mubajje eyabadde n’olukiiko lwe okuli omuwandiisi wa UMSC, Abbaasi Mulubya Ssekyanzi, atwala ebyenjigiriza Sheikh Juma Cucu Bakhit, Dr. Ziyard Lubanga , ssentebe w’olukiiko olukola ku bibuuzo Sheikh Amir Katudde ne Sheikh Ismail Kazibwe , yalumbye abamu ku beeyita ba Sheikh ne bagenda ku mikutu migatta bantu [Social Media] ne bavuma abakulembeze b’eddiini.

Yakangazza nti ekimuleese okutongoza ebibuuzo bino kwe kukakasa eggwanga nti ye Mufti wa Uganda atudde mu ntebe era abakulira amasomero bakakase abayizi baabwe nti ebiwulirwa mu ggwanga bya mikutu migattabantu ebiraga obusiwuufu bw’empisa obweyongedde mu ddiini.

Yasiimye Gavumenti ku ddembe ly’okusinza kyokka n'alabula nti abamu balikozesezza bubi kye bavudde batuuka ku ddaala eririwo.