Bya Hannington Nkalubo
ABAKULIRA ebibuuzo by’eddiini y’Obusiraamu e Kampalamukadde bataddewo amateeka ku masomero gonna agabikola okuweerera bamulekwa babiri buli mwakamu bitundu mwe gali ku bwereere.
Olukiiko olukulira ebyenjigiriza ku Uganda Moslem Supreme Council balagidde nti kano kati kakwakkulizo akateekeddwa okutuukirizibwa buli ssomero eriwandiisibwa okukola ebibuuzo bino eby’eddiini ku ddaala ly’ekibiina ky’omusanvu.
Kino baakikoze okuyambako okuddiza abatuuze omuli essomero eryo. Baasiimye amasomero agaakitandika edda nga Sahara Islamic School e Munyonyo eriweerera baamulekwa b’eyali munnamawulire wa Bukedde TV, Kuraish Nsamba nga ly’ayisizza n’abayizi bulungi nnyo.
Olukiiko olufuga ebibuuzo by’eddiini y’Obusiraamu ku ddaala ly’ekibiina ky’omusanvu wiiki ewedde lwabifulumizza ku kitebe e Kampalamukadde.
A bayizi 20 abaafunye obubonero buna kuliko; Imran Kintu, Abdul Rahim Kalungi, Hussein Kasambula, Abdul Magid Ubaida, Sulait Kaleebu, Adam Abdul Aziz, Abdul Rahman, Yahya Mwanje Balintuma, Sudaish Rahman Abdul, Shamram Kawuna, Shukurat Nannono, Sumayya Namara Ahmed, Sumayyah Ayub Bint Abdallah, Haniffah Nakatudde, Ashraf Kakomo Sharifah, Hindu Norah Kayinza, Zakiya Nabatanzi ne Nuurah Mutazindwa.
Amasomero agaasinze mu ggwanga kuliko: Sumayyah International School, Lufuka Quality Islamic School e Ndejje eryasinze mu Wakiso, Ibun Hamis Islamic Secondary School eryasinze e Luweero, SAHARA Islamic Primary School eryasinze mu Kampala.