Olutalo ku bizimbe ebyatundibwa Mufti Mubajje e Bukesa

OLUTALO lusituse ku bizimbe bya kalina ebyatundibwa obukulembeze bwa Mufti Sheikh Ramathan Mubajje abaabigula bwe babikubyeko ebibaati kyokka ababisulamu ne babiremeramu nti, emisango gikyali mu kkooti.

Ebbaati eryakubiddwa ku kalina e Bukesa..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Olutalo #bizimbe #ebyatundibwa #Mufti Mubajje #Bukesa

Bya Hannington Nkalubo

OLUTALO lusituse ku bizimbe bya kalina ebyatundibwa obukulembeze bwa Mufti Sheikh Ramathan Mubajje abaabigula bwe babikubyeko ebibaati kyokka ababisulamu ne babiremeramu nti, emisango gikyali mu kkooti.

Ebizimbe bino ebisangibwa mu Jjambula Zooni e Bukesa ku luguudo oludda e Nakulabye bikaayanirwa famire ya Walusimbi Mpanga eyali Mmeeya wa Kampala eyasooka.

Ffamire ya Walusimbi egamba nti, erina obwannannyini ku ttaka erisangibwa e Bukesa okuliraana omulyango gw’essomero lya Old Kampala Primary School bwa myaka 99.

Ku poloti zino kuliko ebizimbe bya kalina ebiwandiikiddwaako ebigambo by’Olungereza ebitegeeza nti, tezitundibwa. Kalina zino zaatundibwa ekitebe ky’Obusiraamu ekya Uganda Moslem Supreme Council ne ziguzibwa abantu basatu okuli:

l Plot 399 esangibwa ku Block 2, eno Mubajje ne Mugalu baagiguza omugagga Hassan Mugoya.

l Plot 401 esangibwa ku Block 2, eno baagiguza Madinah Nassali.

l Plot 400 esangibwa ku Block 2 baagiguza kkampuni ya Zala Universal Investments Ltd.

Olutalo lwasituse owa Zala ne Mugoya bwe baakubye ebibaati ku poloti zaabwe wakati mu kuwakanyizibwa abapangisa nga bagamba nti, be bannannyini ttaka.

Abapangisa baatabuse bwe baalabye ebibaati ebyabadde bikubibwa ne bategeeza nti, baabadde mu kkooti ku musango gw’obwannannyini bw’ettaka lino era ensonga tezinnaggwa nga embeera eteekwa okusigala nga bw’eri.

Abaakubye ebibaati olwabimaze ne baagala okuteekako ggeeti ate ne bapangisa n’abaserikale b’ekitongole ky’obwannannyini ekikuuma babiri. Bano baabadde bawagirwa omu ku baserikale ba poliisi gwe baayogeddeko nti, yabadde akolera bagagga.

Beekubidde enduulu ew’omubaka wa pulezdenti mu Kampala gwe baabadde balinda abayambe okugoba abaserikale kyokka yabadde tannagendawo abaserikale ne babaggyawo.

Atwala ebyokwerinda mu Jjambula Zooni, Sulaiman Ssekitooleko yagambye nti, bo ng’abakulembeze bamanyi nti, ebyo ebizimbe bya UMSCera be yaguza be babadde bakuba ebibaati. Yategeezezza nti, abapangisa bateekwa okumanya nnannyini kintu era basaana beesalire amagezi.

Kyokka abapangisa baamuwakanyizza nti, yeerabidde by’ayogera kubanga bannannyini ttaka baali baawa Abayindi liizi era bwe yaggwaako liizi n’eddira bannannyini yo era omusango mu kkooti gulindiridde nsala.

Baakombye kw’erima nti, tebagenda kukkiriza baserikale ba kitongole kikuumaddembe ku ttaka likaayanirwa wadde okubasibira mu kikomera ky’ebbaati eryabadde likubiddwa okuggyako ng’omusango gusaliddwa mu kkooti.