Kkooti egobye Imaamu aliko n'ekomyawo Abasiraamu gwe baagoba emyaka 13 emabega

Kkooti enkulu eddizza Uganda Moslem Supreme Council omuzukiti gwa Masgid Sarafu ogusangibwa mu Kayunga West mu town council y'e Kayunga n'eragira nti Sheikh Abudallah Ssebisubi azzibwe ku bwa Imaamu kwe yagobwa mu 2007.

Kkooti egobye Imaamu aliko n'ekomyawo Abasiraamu gwe baagoba emyaka 13 emabega
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Masgid Sarafu #Kayunga West

Kkooti enkulu eddizza Uganda Moslem Supreme Council omuzukiti gwa Masgid Sarafu ogusangibwa mu Kayunga West mu town council y'e Kayunga n'eragira nti Sheikh Abudallah Ssebisubi azzibwe ku bwa Imaamu kwe yagobwa mu 2007.

Ensonga zino zikulungudde emyaka 13 nga era nga zaatwalibwayo Sheikh Abudallah Ssebisubi nga awakanya eky'abasiraamu okumugoba ku bwa Imaamu ne bamaamira omuzikiti, essomero n'ebyobugagga ebirala.

Sheikh Kassim Nsubuga Imaamu Aliko Era Y'omu Ku Baaloopebwa. Ekif;saul Wokulira

Sheikh Kassim Nsubuga Imaamu Aliko Era Y'omu Ku Baaloopebwa. Ekif;saul Wokulira

Omulamuzi Joy Namboozo owa kkooti Enkulu etudde e Kayunga asazeewo nti abawawaabirwa musanvu okuli Sheikh Kassim Nsubuga akala nga Imaamu w'omuzikiti, Sulaiman Ngabo n'abalala beewang'amya bwe wang'amya era byonna bye baakola bimenya amateeka.

Mu nsala y'omulamuzi Namboozo agambye nti abawawabirwa tebalina kiwandiiko kyogera ku kubeerawo kwabwe era ne bye baagamba kkooti nti bawagirwa bakama baabwe e Nakasero tebiriiko bukakafu so nga Sheikh Ssebisubi yalaze ebiwandiiko ebyamuwa obuyinza mu 1973.

Omuzikiti Gwa Sharaf Oguddiziddwa Supreme Council. Ekif;saul Wokulira

Omuzikiti Gwa Sharaf Oguddiziddwa Supreme Council. Ekif;saul Wokulira

Omulamuzi alagidde nti ababadde baamaamira omuzikiti ne pulojekiti z'obusiraamu e Kayunga babyamuke sheikh Ssebisubi adde ku nkasi y'okuddukanya obuvunaanyibwa obwakukwasibwa mu 1973 wabula Bannakigwanyizi ne bawamba obuvunaanyizibwa era nga abubadde bbali emyaka 13.

Sheikh Ssebisubi yeebazizza Allah olw'ensala ya kkooti.

Wabula abawawaabirwa nga bakulemberwa Imaamu Sheikh Kassimu Nsubuga agambye nti bagenda kutuuza olukiiko okusalawo oba banaajulira.

Ekiwandiiko Ekiriko Ensala Ya Kooti. Ekif; Saul Wokulira

Ekiwandiiko Ekiriko Ensala Ya Kooti. Ekif; Saul Wokulira