OMUMYUUKA ow'okusatu owa katikkiro wa Uganda, Lukia Isanga Nakadama avuddeyo n'asaba abazadde okufaayo ennyo ku ndabirira y'abaana nga beewala okubatikka emiriimu egitali gyabwe.
Minisita Nakadama alabudde abatuntuza abaana
By Steven Kiragga
Journalists @New Vision
#Lukia Isanga Nakadama #Nabweru
OMUMYUUKA ow'okusatu owa katikkiro wa Uganda, Lukia Isanga Nakadaama avuddeyo n'asaba abazadde okufaayo ennyo ku ndabirira y'abaana nga beewala okubatikka emiriimu egitali gyabwe.
Bino Nakadaama abyogeredde ku kisaawe e Nabweru mu kukwasa abayizi ababanguddwa mu by'emikono amabaluwa mu masomo agenjawulo mu nkola ya 'Skilling Uganda' e Nabweru n'ayambaliira abazadde abatuma abaana ekiro saako ababatunzisa kasooli ekiro, ky'agamba nti kibateeka mu katyabaga k'okufuna obuzibu .
Wano amyuuka ssaabawandiisi wa Uganda Moslem Supreme Council, Muhammad Ali Aluma waasinzidde n'asaba abazadde essira okulissa ku baana abalenzi kuba bangi basuuliddwa bbali kyokka nga be batambulirako amaka amalungi.
Ye Hajjat Zam Zam Namubiru, akulira ettendekero lino waasabidde abakyala obuteetuulako wabula bayige ebyemikono okusobola okukendeeza ku butabanguko mu maka obuva ku bwavu mu maka.
Zamzam yagasseeko nti abaami bangi bagaana bakazi baabwe okukola ky'agamba nti kirina okukyusibwa kuba buli omu mu maka agwanidde okuba nga ayingiza ssente amaka okweyagaza.