Abantu basabiddwa obutalamaga lwa kinyumu

Ebikumi n’ebikumi by’abalamazi okuva e Jinja ne mu bitundu eby’enjawulo baakedde okweyiwa ku ssomero lya Mt Elijah Primary School mu gombolola y’eGoma e Mukono,we basinzidde okuva okweyongerayo ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.

Abalamazi nga batambula
By Joan Nakate
Journalists @New Vision

Ebikumi n’ebikumi by’abalamazi okuva e Jinja ne mu bitundu eby’enjawulo baakedde okweyiwa ku ssomero lya Mt Elijah Primary School mu gombolola y’eGoma e Mukono,we basinzidde okuva okweyongerayo ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.

Abalamazi bano okubadde n’abaana abato, abakadde ba muzibe,n’abalala baasuze ku keleziya ya St Paul Catholic Church e Wantoni mu Mukono, basimbuddwa omulabirizi w’obulabirizi bw’ejinja,Bp Charles Martin Wamika abakulembedde olwo ne bagoberera wakati mu kukooloobya enyimba ezitendereza omutonzi era ezibazzaamu essuubi okumalako olugendo lwabwe awatali kusomoozebwa.

Bano baakutambula kilomita 7 okuva e Goma,bayitemu okutuuka e Ssonde olwo bagwe e Namugongo.  

Abalamazi nga batambula okuva ewa Ntoni okugenda e Namugongo

Abalamazi nga batambula okuva ewa Ntoni okugenda e Namugongo

Embeera eno ereeseewo akalippagano k’ebidduka wakati mu baserikale ba poliisi n’abamagye ababadde batakkiriza motoka kuyisa era nga n’abagoba ba abodaboda ababadde bagezaako okuvugisa ekimama bakira piki zaabwe zibagyibwaako.

Rev FR Anthony Kizito omuyambi wa bwana mukulu w’e keleziya ya St Paul Catholic Parish Church akalaatidde abalamazi okubeera n’ekigendererwa nga balamaga ate era bakulembeze okukkiriza olwo katonda asobole okubawa byonna bye beetaaga era ebyo ebyabaleetedde okusalawo okutambula olugendo luno oluwanvu okugenda e Namugongo.

“Nkuutira abalamazi bonna okubeera n’okukkiriza baleme okulamaga olw’ekinyumu wabula balamage  n’ensonga ey’omulamwa okulaba ng’essaala zaabwe zaanukulwa, ababadde n’emize emibi egibalemeddemu, basabe omukama nti mu kulamaga kuno abayambe badde ewaka nga bakyuuse.

Ate era mbasaba okukoppa n’okuyigira ku bajulizi be tujjukira abaasaddaaka obulamu bwabwe ku lw’omukama ,nsaba ffena tubayigireko.”kizito bw’agambye.

Abamu ku balamazi bategeezezza Bukedde nga bwe balamaga okufuna bye beetaga omuli okwewangulira obufumbo obutukuvu, okufuna ezadde, okufuna emirimu,obufumbo bwabwe okutebekenkera, okufuna ssente n’ebyebeetaaga okva eri katonda ebirala bingi.