"Abaami mwongere amaanyi mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe mu maka"

BWANAMUKULU w’ekigo ky'e Kamwokya Rev. Fr. Godfrey Kato Ssemwogerere okubiriza abaami okwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka wamu ne mu Klezia kubanga bangi gwe mutwe ogulina okutambuza buli kimu.

"Abaami mwongere amaanyi mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe mu maka"
By Emmanuel Ssekaggo
Journalists @New Vision

Fr. Kato bino abyoegedde  abaami mu kigo kye Kamwokya abeegattira mu kibiina kya Kamwokya Men’s Guild bwebabadde bakuza olunaku lwabwe wamu n’okwefumintiriza ku bye balina okukola okusobola okukulaakulana mu bulamu obw’omwoyo n’obw’omubiri.

Fr. Kato yajjukizza abaami nti gwe mutwe gw’enkulaakulana mu Klezia wamu ne mu maka gaabwe nga bwe baasuuliririra obuvunaanyizbwa buno emirimu gya Klezia tegijja kutambula bulungi ate n’enkulaakulana mu maka ejja kuzing'ama.

Yabawadde amagezi nti okusobola okukulaakulana balina okunyweza ebibiina ebibagatta nga mu bino bwe basobola okuyita okuwang'ana amagezi ku nsonga z’enkulaakulana ate naddala okweyigiriza okutereka ssente ezisobola okubayamba okuyimirizaawo obuweereza bwabwe ku Klezia ate n’okukulaakulanya amaka gaabwe.

Vincent Elungat eyakuliddemu okuteekateeka olunaku lw’abaami mu kigo ky'e Kamwokya yagambye nti okusomoozebwa bo ng’abakulira abaami e Kamwokya kwe basanga kwekuba nti abaami balina omuze ogutajjumbira nkiiko ate nga mwe bayita okwewa amagezi ku birina okubatwala mu maaso bw’atyo n’abasaba okukomya omuze guno.