HomeAmawulireOmugagga Nabukeera asiitaanye ku by’obujulizi mu gw’okumenya edduuka

Omugagga Nabukeera asiitaanye ku by’obujulizi mu gw’okumenya edduuka

23rd March 2023

OMUGAGGA wa Nabukeera Plaza; Christine Nabukeera yasiitaanye okumatiza kkooti okugoba obujulizi bw’abaserikale ba poliisi abazze okumulumiriza mu musango gw’okumenya edduuka n’okubba emmaali y’omupangisa we, John Kabanda okukkakkana ng’okusaba kwe kugaaniddwa.

Omugagga Nabukeera asiitaanye ku by’obujulizi mu gw’okumenya edduuka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
1 views

OMUGAGGA wa Nabukeera Plaza; Christine Nabukeera yasiitaanye okumatiza kkooti okugoba obujulizi bw’abaserikale ba poliisi abazze okumulumiriza mu musango gw’okumenya edduuka n’okubba emmaali y’omupangisa we, John Kabanda okukkakkana ng’okusaba kwe kugaaniddwa.
Yabadde ku kkooti ya Buganda Road mwe bamuvunaanira ne mutabani we, Vincent Mawanda okumenya edduuka lya Kabanda eryali ku Nana Center ne babbamu ebisawo by’engatto 43 ebibalirirwamu ssente obukadde 350, ssente enkalu obukadde 172 n’ebiwandiiko bya bizinensi byonna, nga bamulumiriza okukunga bapangisa banne obutasasula ssente z’obupangisa ez’emyez gye baamala nga tebakola mu 2020 mu kiseera ky’omuggalo ogwaleetebwawo ekirwadde kya Covid-19. Abaserikale ba poliisi 3 okwabadde Henry Mandera ali ku ddaala lya Detective orporal, Martin Waluba (corporal) n’omulala baaleeteddwa oludda oluwaabi okwongera ku bujulizi
bw’abantu 7 abaamala edda okulumiriza Nabukeera nti yamenya edduuka lya Kabanda kyokka baabadde tebannatandika kunnyonnyola byaliwo, looya wa Nabukeera, Macdusman Kabega n’asituka okubalemesa. Yagambye omulamuzi Namboozo nti bano baaleeteddwa ku ssaawa esembayo kugezaako kutungirira bituli ebyalekebwawo
 abajulizi abaasooka kubanga oludda oluwaabi bwe lwali lubawa ebizibiti ne sitetimenti z’abajulizi be bagenda okukozesa okulumiriza Nabukeera, ez’abasatu bano tezaalimu kyokka ebintu bwe biboonoonekedde kwe kusalawo okuzikukusa mu musango.
Yagasseeko nti sitetimenti zonna ezizze zikozesebwa mu musango zaakolebwa emyaka ebiri emabega kyokka ez’abaserika ba poliisi abazze okulumiriza zzo zaakoleddwa
nga March 21, 2023 ng’ate omusango gwakuwulirwa nkeera nga March 22,2023 n’agamba nti oludda oluwaabi lwayagadde luzibasuuleko busuuzi ekitakkirizibwa
mu mateeka n’asaba omulamuzi azigobe era baleme kuwa bujulizi bwabwe.
Looya wa Gavumenti, Allan Mucunguzi yamwanukudde n’agamba nti ttiimu ya Nabukeera kye yandibadde esaba kkooti kw  kubawa obudde basobole okuyita
mu sitetimenti zino bafune engeri gye banaazikubamu ebituli naye so si kusaba zigobwe kubanga oludda oluwaabi lukkirizibwa okuleeta abajulizi baalwo kasita babeera
nga bagenda kwongera kuggumiza ebiri mu musango.
Omulamuzi Namboozo yakkiriziganyizza ne Mucunguzi n’agamba nti engeri yokka kkooti gy’ejja okusala obulungi omusango guno kwe kuba ng’ewulirizza buli ludda n’agamba nti obujulizi bw’aba poliisi agenda kukkiriza kkooti ebuwulirize wabula awadde ttiimu ya Nabukeera ebbanga lya mwezi gumu basooke babuyitemu
babeere nga tebawulira kipya ku lunaku lw’okubuwaayo.
Yalagidde omusango guddemu nga April 27, 2023