ABAAMI Abafumbo abeegattira mu kibiina kyabwe mu kkanisa ekya Father's Union mu bussabadinkoni bw'e Gayaza bakuzizza olunaku lw'omuwolereza waabwe Petero ne basabibwa okwagala ennyo bakazi baabwe kiyambe abaana be bazadde okukulira mu mpisa ez'obuntu bulamu.
Abaami Nga Basitudde Ekikopo Kye Baawangula.
Abakyala basabiddwa okuba abasaale mu kuyamba abaami okutuukiriza obuvunaanyizibwa naddala nga bakola n'okwettanira enteekateeka n'enkola z'ekibiina awamu n'enteekateeka y'amaka amakristaayo agajjudde Katonda nga batambulira Ku byawandiikibwa.
Bayingizza abaami 10 n'okubakwasa amabaluwa agabakakasa nga bammemba abajjuvu. Basiimye abakoleredde ennyo ekibiina era ne batongoza n'okusondera Pulojekiti y'okulunda embizzi ng'abaami mu bussabadinkoni.
Kuno kwagattiddwako amyuka ssentebe w'ekibiina kino ku Bulabirizi, Benon Ssentongo eyakwasiza Rev. Edward Kamoga ekikopo, abaami abafumbo kye baawangula mu by'emizannyo Ku Bulabirizi 2025, ku lwa ssaabadinkoni ataabaddewo.
Mu kubuulira, Rev. Can. Patrick Kemba okuva mu Bulabirizi bw'e Busoga,yabasabye okunyweza kye balina okutuuka Ku nkomerero nga beefumiitirizanga buli kadde Ku ebyo ebyawandiikibwa ku Petero nti lwe bajja okubeera abawanguzi.
Obwesigwa okwenenya, okwekkiririzamu,mpagi nkulu Nnyo mu kuzimba n'okuyimirizawo amaka,bino byebimu Petero ebyamulabwamu ng'azimba amaka,Kuba yakkirizza nti Kristo gwawereza Mwana Wa Katonda''.Bwatyo Can. Bweyategeezezza.
Yabakuutidde naddala abaayingiriddwa mu kibiina n’abakirimu nti baafuuse era baafuuka ejjinja eritakyukakyuuka na mbeera obutatwalibwa bitaliimu n’abasaba obutafuuka biyinja byatise basigale mu kifaananyi eky'obufumbo bwabwe.
Abaami yabasabye okwewala okuusakuusa bakyala baabwe nti kino kivaamu amaka okuba nga eddwaniro ate n'okubaleteera ebirwadde eby'enjawulo ate okuba ab’amazima era abagunjufu.
Yabasabye okukkirizza Kristo nga Petero bwe yamuvmbula nti lye kkubo kyokka ery'okukuuma emirembe agajjudde essanyu.