ABAZADDE basabiddwa obutayingirira bufumbo bw'abaana baabwe kuba bukolebwa abantu babiri n'abaana balina okubaako we bakoma ku nsonga z'abazadde baabwe so si ku akaka kwawukana nga bafunyeemu obutakkaanya.
Bino byayogeddwa Rebecca Nazziwa Kakeeto mukyala wa Ven. Rev. Canon Simon Peter Kakeeto Ssaabadinkoni mu Bussabadinkoni bw’e Kasenyi mu disitulikiti y’e Mubende mu bulabirizi bw’e Mityana.
Yabadde ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Father’s Union ogwabaadde ku kkanisa ya St. Mark Church of Uganda Kiyanja mu Busumba bw’e Mpererwe esangibwa mu muluka gwa kawempe II mu minisipaali y’e Kawempe .
Nazziwa yagambye nti obufumbo bukolebwa abantu babiri nga bulinga kazannyo ka matatu omala kubikkula kaadi n’olaba oba ofunye kituufu oba otomedde.
Yayongeddeko nti buli lw’ofuna omwagalwa n’omutwala awaka ogenda okulaba alina emize egitali gya bulijjo nga obutanaaba , obutamiivu n’emirala, ng’olina kufuba nnyo okwegayirira Katonda amukyuse.
Yategeezezza nti kyokka abazadde abamu be baagala n’okusiimira abaana baabwe abaagalwa kye yagambye nti kikyamu.
Yagambye nti abafumbo bangi mu kiseera kino balina ebizibu ebibamala okwawukana naye olw’okuba baakola endagaano naye, kulina okubaako eyeeresa ebimu n’alaba birabe.
Rev John Kiyingi atwala obusumba bw’e Mpererwe yasabye abafumbo okuba abakkakkamu mu buli nsonga ng’obufumbo balina kubutambuliza mu katonda.
Ku mukolo gwe gumu abaami musanvu baayingiziddwa mu Father’s Union y’Obusumba nga ku bano kwabaddeko Fredrick Mabiriizi, Joseph Ssevvume , David Tomusange, Robert Mugabe, Cydin Bukenya.
Ate aba Father’s Union abaakoze obulungi baasimiiddwa era ku bano kwe kwabadde Samuel Kasirye omumyuka w’omukubiriza mu Busumba bw’e Mpererwe, George Kasule, Stephen Katende omuwandiisi, Stevenson Namwanja omuwanika n’abalala.
Samuel Kasirye ne Stevenson Namwanja baasabye abazadde okukuliza abaana mu mpisa , okubayigiriza okutya Katonda nga kino kijja kuyambako eggwanga okufuna abantu ab’obuvunaanyizibwa mu biseera by’omu maaso .