Abasunsuddwa leero ku bifo eby'enjawulo

Robert Nkwanga Lutaaya asunsuddwa okuvuganya ku kifo kya Lord Kansala okukiikirira abantu abaliko obulemu ku lukiiko lwa KCCA. 

Robert Nkwanga Lutaaya ng'asunsulwa
By Peace Navvuga
Journalists @New Vision

Robert Nkwanga Lutaaya asunsuddwa okuvuganya ku kifo kya Lord Kansala okukiikirira abantu abaliko obulemu ku lukiiko lwa KCCA. 

Robert ategeezezza nga bw'agenda okwongera okuteesezza abantu abaliko obulemu, ssaako okussaawo engeri gyebasobola okugangulwa mu nteekateeka za Gavumenti ezikolebwa ekitongole kya KCCA.Omuli okufuna emidaala mu butale, okuweebwa emirimu KCCA,ssaako n'okuzimba amasomero ga Gv't gayambe abaana baliko obulimu mu nkozesa y'obubonero kibayambe okutambuza obulamu bwabwe. 

Ronald Balimwezo oluvannyuma lw'okusunsulwa

Ronald Balimwezo oluvannyuma lw'okusunsulwa

RONDAL BALIMWEZO

Ronald Balimwezo leero naye akakasiddwa ku kifo kya Lord Mayor wa Kampala'

Ono ategeezezza nti azze kutereeza kibuga olw'ensonga nti kijjuddemu emyala, enguudo embi, amataba, era nga bino bye bimu kubyamuviirako okufuna obulemu ku mubiri. Balimwezo agamba bino bwanaalondebwa ku kifo kino bino byona bigenda kubeera lufumo. 

Namazzi Olive oluvannyuma lw'okusunsulwa

Namazzi Olive oluvannyuma lw'okusunsulwa

NAMAZZI OLIVE

Ono naye asusunsuddwa okuvuganya ku kifo kya lord Kansala ku kifo ky'abakyala okuva mu Nakawa ku Card ya Nup. 

MULEBWAIRE JACKY AGNESS

Agness oluvannyuma lw'okusunsulwa

Agness oluvannyuma lw'okusunsulwa

Ono naye asunsuddwa okuvuganya ku kifo kya lord kansala ow'abakyala okuva mu Makindye II. 

Ono akakasizza nga bw'agenda okukyusa endowooza z'abakyala ssaako n'okuganyulwa mu nteekateeka za gv't.

Obutafaananko nga bwekyabadde eggulo leero embeera y'ebyokwerinda ebadde gguluggulu okutangira ebibadde biyinza okubalukawo.