OMWEZI oguwedde, ensiike y’omukwano, yabuutikirwa nnyo okwanjulwa kwa Frank Gashumba mu bazadde ba nnalulungi we, Patience Mutoni Malayika.
Gashumba, atemera mu myaka 50 n’omusobyo, yeewangulira omuwala omuto, abali ku mitimbagano gya yintaneeti gwe baayogerako nti ali mu myaka 20 era wano abamu we baaleetera enjogera y’Olungereza egamba nti; ‘Age is just a number’.
Kyokka era abamu tebaalemwa kukayisaawo nti kyenkana atutte muwala we. Abalala ne batenda Mutoni, okuba omuwala ow’amaanyi, asobodde okuwangula omutima gwa Gashumba, eyeeyogerako nti amaze emyaka 25 nga talina mukyala wadde nga yali abaddeko n’omukyala.
Naye ekyo si kipya, omuwala okufumbirwa omusajja amusingira ddala emyaka era obufumbo bwabwe ne buwangaala. Bukodyo ki bwe bakozesa?
Ssenga Hamidah Namatovu, abuulirira abaagalana agamba nti omusajja yenna gye buva ne gye bukoma, yeetaaga okuwa ekitiibwa era buli lw’okimuwa afuna emirembe mu mutima n’asalawo akuwase.
Obukodyo obulala mulimu:
1. Obukkakkamu bw’oyolesa eri omusajja akuliridde mu myaka kikulu kuba gy’akoma okukusinga emyaka, gy’akoma n’okubeera n’obumanyirivu mu bintu ebisinga era wadde naawe oba mumanyi, mulage nti oli mukkakkamu.
2. Kimulage nti ye musukkulumu mu buli kimu. Buli musajja ayagala okumulaga nti ye mutwe omukulu era omuwala bw’ofuna akusingira ddala mu myaka, mulage nti buli ky’akola, musukkulumu.
3. Mulage nti oyagala ye nga omuntu sso si bya bugagga bwe by’akoleredde emyaka aleme kubaamu na kutya kumunyaga.
4. Baako ky’omugattako: Wadde ebiseera ebimu abasajja bano babeera baakolamu era nga balina, kirungi naawe n’oleetayo ku birowoozo ebibazimba sso si buli kadde kubeera ng’otoola butoozi ku bye wasanga akoze.
5. Manya ky’ayagala ne ky’atayagala oleme kumunyiiza. Bw’aba tayagala bya kumukuba bifaananyi, byesonyiwe.
6. Teweemakulira ku bintu bye by’atakuwadde: Abawala abamu balina omuze, bw’asanga omusajja ng’alina ebintu bye, olumu tatawaana na kumusaba wabula alowooza alina kubikwata nga bw’ayagala, ekitali kituufu era kibanyiiza nnyo.