Buubuno obubonero kw'olabira omusajja akumalira obudde mu mukwano

EBIMU ku bigambo, abawala bye batera okwogera nga baawukanye n’abasajja be baganzizzaako, kwe kwebuuza nti; “Lwaki tewang'amba nti tondiiko n’otommalira budde?’ Naye ng’eky’amazima, teri musajja asobola kukyatula nti takwagala bya siriyaasi bw’aba akukwana.

Buubuno obubonero kw'olabira omusajja akumalira obudde mu mukwano
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Mukwano #Ssenga #Basajja #Baami

EBIMU ku bigambo, abawala bye batera okwogera nga baawukanye n’abasajja be baganzizzaako, kwe kwebuuza nti; “Lwaki tewang'amba nti tondiiko n’otommalira budde?’ Naye ng’eky’amazima, teri musajja asobola kukyatula nti takwagala bya siriyaasi bw’aba akukwana.

Naye ate emirundi egisinga, ebikolwa by’omusajja bikulaga nti omukwano gwammwe tegugenda wala era singa omuwala assaayo omwoyo ku mbeera ze, asobola okukimanya. Ssenga Edith Mukisa, omukugu mu nsonga z’omukwano n’obufumbo agamba nti gulinga mulimu gwa basajja okusonseka obugambo eri omuwala amusanyusizza ne bw’aba talina kigendererwa kya kumuwasa.

Ono anokoddeyo obumu ku bubonero kw'olabira omusajja akumalira obudde! Buubuno;

 Ayinza okusalawo okukulaba mu kiro kyokka era ng’akukweka. Ayinza n’obutakukkiriza kusisinkana mikwano gye oba ffamire ye wadde nga mumanyiganye ebbanga.

 

Oyinza n’okumusaba omusisinkane naye ng’assaawo ebiremesa n’atakuwa budde. Kyokka ye lw’aba akwetaaze, akunoonya era n’akusuubira ggwe okubeerawo.

 Omusajja ng’omwetegerezza, mu by’ayogera ayinza obutabeera mulambulukufu: Taba mwerufu era ayinza okukakasa nti akolera mu Ndeeba ate olulala n’akutegeeza nti alina galagi e Mukono ng’e Ndeeba aba akimye sippeeya. 

Tafaayo ku butya bw’owulira. Obugumu mu mukwano buzimbibwa ku ngeri mmwe abaagalana ababiri gye muba mukwataganyeemu mu mitima na butya bw’owulira eri munno. Bw’obeera mu mukwano n’omusajja oyo nga teri nkwatagana ya mitima, muyinza obutatuuka wala naye. B

Omusajja ng’akussa ku puleesa okukola by’ayagala byokka. Abasajja abamu bakwana abakazi okubayambako okutuukiriza ebigendererwa byabwe naddala okwesanyusa mu kaboozi.

Omusajja asabiriza omukazi ssente nga yaakamukwana: Abasajja abamu bayingira omukwano nga babazaamu ssente era mu nnaku ntono nnyo, omusajja yennyini aba atandise okukusindira ebizibu n’okukusaba ssente.