Enteekateeka y'omwana omuwala bw'erina okuba okuva nga yaakazaalibwa

Omwana omuwala anaafuuka mukyala owa nnamaddala, alina okuteekebwateekebwa okuva nga yaakagwa ku nsi n’akula ng’abazadde bafaayo okutuusa lw’afuuka omukyala atuuse okufumbirwa. 

Enteekateeka y'omwana omuwala bw'erina okuba okuva nga yaakazaalibwa
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Ssenga #Mwana #Muwala #Nteeka #Nkuza

Omwana omuwala anaafuuka mukyala owa nnamaddala, alina okuteekebwateekebwa okuva nga yaakagwa ku nsi n’akula ng’abazadde bafaayo okutuusa lw’afuuka omukyala atuuse okufumbirwa. 

Ssenga Hamidah Namatovu, bwe yabadde mu mwoleso gwa Bride & Groom ogutegekebwa Vision Group e Lugogo, yategeezezza nti byonna abazadde bye bakola okuteekateeka omwana omuwala nga yaakazaalibwa, bimuyamba atuusizza okufumbirwa era oyo yenna gwe bitakolwako, oluusi alabwa ng’alina ekimubulako.

Hamida

Hamida

Okusulika omwana omuwala n’okwata akagere n’okanyeenya ng’ekigendererwa osobole okwawulamu bulungi ekitundu ekya waggulu ne wansi okusobola okukola ekiwato.

l Okukyalira ensiko: Omusajja bw’osisinkana omukyala nga teyakyalira nsiko tonenya ye wabula onenya abakulu abaamukuza.

l Okumanyiiza omwana okunywa amazzi okuva buto ng’awezezza emyezi 6, kwe batandikira okulya. Mu buto, amazzi gamuyambako okukuuma ebibuno nga biyonjo n’obutabeera mukambwe.

I Ate bw’akula n’afumbirwa, okunywa amazzi tteeka kuba ge gamu ku gakola ensulo. Bw’aba yava buto ng’aganywa, bw’akula tegamukaluubiriza. Muno mulimu okukuuma enjala ez’ebigere n’engalo nga mweziri

l Amannyo: Omuzadde faayo olabe nti omwana akuula bulungi amannyo ekiseera nga kituuse aleme kutuuka mu myaka gifumbirwa ng’alina engereka. l Okukuuma omwana aleme okweyokya, olususu lwe lusigale nga lulabika bulungi