WALIWO ebintu abasajja bye bakola nga birabika nga ebya bulijjo naye nga binyiiza abakyala wadde oluusi teboogera. Okusirika tekitegeeza nti basanyufu naye oluusi aba yeebuuza oba akubuuze lwaki weeyisizza bw’otyo oba akuleke.
Waliwo abaami abeewala okweyambulamu engoye zonna nga bagenda okunyumya akaboozi k’ekikulu n’abaagalwa baabwe.
Ensonga eno eruma abakyala ate ng’omwami asobola okwambula omukyala buli lugoye kyokka ye bw’atuuka okweyambula, n’aggyako mpale yokka n’asigala mu bbokisa n’essaati ye bulungi, n’atandika okugaaya.
Abamu, asumulula busumuluzi zzipu, omusipi n’eppeesa ng’engoye ze zonna taziggyeeko kyokka nga ye ayagala ayambule mukazi we yenna. Mu mbeera ey’obwangu kikola naye nakyo kinyiiza abakazi kuba obeera mwambudde yenna.
Ensonga eyo eruma abakyala kuba eraga obutali bwerufu oba nga omusajja alina ky’akweka ky’atayagala mukyala we amanye era oluvaamu, omukyala asobola okwecanga.
Ssenga Barbra Nangendo, agamba nti embeera eno yanditta obwagazi bw’omukyala oba okubukendeeza, akaboozi ne katamunyumira olw’ensonga ntinaba n’ebibuuzo bingi ebimujjira.
Oyinza okwebuuza nti buli lunyumya lw’akaboozi, omuntu alina okweyambula? Bwe kaba ka mangu (quickie), engeri oluusi gye muba mupakuka, n’omukyala asobola okusigala nga bw’ali n’awenjulako buwenjuzi kawale ka munda olwo akaboozi ne kataba.
Naye ekinyiiza, ye mukyala okweyambula ate omwami nga tayagala. Kino kiri nnyo mu baami okugaanira mu ngoye, era bbookisa n’agizzaako buzza wansi katono, n’awoomerwa ensonga.