ABAAGALANA abamu bwe baba baakeefuna omukwano guba mu bire era bw’osanga abeesindikira obubaka, kumpi buli luvannyuma lwa ssaawa, aba ayagala okumanya munne bw’ali.
Era buli omu yeefaako nnyo, atere alabikire munne ng’ekyokulya buli kadde.
Kyokka nga wayise akabanga abamu, batandika obutafaayo kulabikira bannaabwe bulungi wadde ng’ate ku mukyala, kimukakatako okulabika obulungi, buli kadde.
Omukyala Nga Yeekolako.
Josephine Nanziri, abuulirira abaagalana ng’asinziira Kyanja
agamba nti omusajja okutandika okuperereza omukyala, ebiseera ebisinga asooka kusinziira ku ndabika ye.
Abamu, yeegomba akaviiri k’aba asibye nga kamulabikidde bulungi, abamu alaba emimwa gy’omuwala agyaboobera n’amusonseka obugambo.
Nanziri ayongerako nti kyannaku, abawala abamu bwe bamala okufuna abaagalwa, tebeefiirayo kulabika bulungi ne beerabira nti ate abaami baabwe, baba baabeegomba, oluusi lwa ndabika.
Omukyala weegogola otya ne wezza buggya wenna? Nanziri annyonnyola nti omukyala, buli luvannyuma lw’akabanga, alina okwefaako ne yeegogola okuva ku kaviiri waggulu ku mutwe, okutuuka ku kagere ka nasswi, nga buli kimu akirongoosa, omwami we n’amukubako eriiso nga mupya mu ndabika ne mu nnyambala.
Enjala enjooyoote ezirabika obulungi
Ensingo kikulu, eriyo ababaamu n’ebiseera kyokka nga tebamanyi kugiyonja.
EBBEERE LYO N’EKKUNDI, bifaanana bitya? Abakyala abamu tebakimanyi nti mu nnywanto z’amabeere, mukwatamu ekko era nga balina okufaayo okuyonjaawo. Ebbeere, abasajja balyettanira era kikola bubi omusajja, okulituukako nga lirimu olutungununa olw’entuuyo ezitayonjebwa. Kye kimu n’ekkundi.
NABUNNYA: Wano byonna we biggweera naye ennyonja entuufu yanditandikidde ku kwesalira ate era buli lunaaba, n’okakasa nti otukula ng’abakugu bwe balagira. Waliwo omusono ogwajja ogw’okukozesa ‘wax’ era munno bw’aba ky’ayagala, kikole, omulabikire bupya.
SIba akaviiri ko kalabike bulungi nnyo
ENGALO, ENTUMBWE EBIGERE N’ENJALA: Omukyala atambula n’omulembe, yeekolako engalo ne zigonda n’ebigere ne bitakalabula munne mu kitanda.
ENJALA: Abawala abamu okuyonja enjala, kizibu kyabwe era abamu bakoma kuzisalako busazi naye nga munda mu zo, mujjudde obukkokkoliko obuyinza okumalako munne apetayiti. Waliyo ebizigo ne woyiro ebigonza olususu munno n’akutuukako nga lwonna lugonda.
ENNYAMBALA nayo gikyuseeko, ne bwe muba waka, munno omwambalire ebimunyumira era ebinaamussa mu mmuudu. Ate bwe kituuka ku nnyumya y’akaboozi, funayo sitayiro eneekolera munno ddala mu byonna, obeera nga weezizza buggya.
ENVIIRI: Enviiri kitiibwa kya mukyala era omukyala yenna aneegogola, buli kaviiri akali ku mubiri gwe, k’atandikirako okulongoosa.
FEESI: Mu maaso, mwe muli ebintu ebirabisa omukyala obulungi okuli ekyenyi, ekisige, emimwa n’ensingo wadde ng’abamu tebabifaako. Omukyala weeyonje, omuttunta ogumwe ate n’ekisige osale ekisikiriza omwami wo.
Emimwa nagyo gisikiriza abasajja, era togikkiriza kukala. Eriyo obuzigo obusiigibwako ne girabika bulungi ate eriyo n’abalina emimwa emiddugavu kyokka nga basobola okubaako bye bassaako ebitali bya bulabe, ne gidda buggya era ne girabika ng’ekyokulya.