BUKEDDE TV 1 eyongedde okuleebya ttivvi endala mu ggwanga, okunoonyereza bwe kulaze nti ye ttivvi esinga okulabibwa mu ggwanga.
Okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekya IPSOS, Bukedde TV 1 y’esinga okulabibwa mu Uganda ng’eri ku bitundu 26 ku 100, n’eddirirwa NTV ku bitundu 18 ku 100, NBS ebitundu 11 ku 100, TV West ebitundu 10 ku 100, KBS ebitundu 8 ku 100 n’endala ne zigoberera.
Richard Kayiira Ssaalongo, maneja wa Bukedde TV 1, yagambye nti ebiyambye Bukedde okubeera ku ntikko, z’enkyukakyuka ezizze zikolebwa mu mpeereza ya pulogulaamu ez’enjawulo, naddala amawulire.
Amawulire Agataliiko nfuufu, gasitudde nnyo omutindo, ate n’aga ‘Agabuutikidde’ nago gongedde okulabibwa ennyo, olw’akanyomero ‘ak’ensiitaano ya bakirimaanyi’ akakwata ku kusika omuguwa wakati w’ensi zi kirimaanyi naddala mu lutalo lwa Russia ne Ukraine, ng’akanyomero kano kakutte nnyo abantu omubabiro.
Enkyukakyuka ezikoleddwa mu pulogulaamu y’Ekyenkya, Kayiira agamba nti nazo zongedde okutumbula Bukedde TV 1 mu bantu. Muno mulimu amawulire agakwata ku bassereebu, emboozi ez’akafubo ne bassereebu, kwossa akanyomero k’emboozi z’aba bodaboda n’omuntu waabulijjo.
Pulogulaamu ezikwata ku bizibu abantu bye bayitamu n’okulaba nga basobola okuyambibwa n’okufuna obwenkanya, nazo Kayiira agamba nti zireetedde abantu okwesiga ennyo Bukedde TV 1.
Muno mulimu ‘Fayiro ku mmeeza’, erafuubana okulaba ng’abantu abanyigirizibwa bafuna obwenkanya, ng’eragibwa buli lwa Mmande ssaawa 2 - 3 ez’ekiro, ate n’eddibwamu buli Ssande essaawa 5 ez’ekiro nga Agataliiko Nfuufu gawedde.
Pulogulaamu endala y’eya ‘Taasa amak ago’ ng’eno essira eritadde ku nsonga ezigulumbya abantu mu famire zaabwe, ebeerawo buli Lwakutaano essaawa 2 - 3 ez’ekiro.
Kayiira era agamba nti Bukedde TV 1 yatandika okuweereza abantu amawulire ag’akagwawo butereevu okuva mu kitundu gye gabadde, okusobola okumanyisa abantu ebiba bigenda mu maaso, n’okulaba ng’omulabi wa Bukedde TV 1 tasigalira mabega.
Obuzannyo Obufiripino obuyimbirirwa VJ Junior nabwo bwongedde okukwata abantu omubabiro, nga mu kiseera kino akazannyo akaliko kayitibwa ‘Bold Embrace’ nga kalagibwa ku ssaawa 3 - 4 ez’ekiro.
Kayiira yasuubizza abalabi ba Bukedde TV1, nti baakugenda mu maaso n’okuyiiya ebipya okusobola okwekuumira waggulu.