Amawulire

Vision Group yeeyamye okukwasizaako obulabirizi bwe Mukono okuzimba Lutikko

Kkampuni ya Vision Group y’emu kw’ezo ezesowoddeyo okulaba nga ng’ekwaasizaako obulabirizi bw’e Mukono mu nteekateeka ey’okusonda ensimbi ezigenda okutandika ku mutendera ogw’okubiri ogw’okuzimba lutikko.

Rev. Canon, Sserwanja Mmere ewooma ng'aliko by'annyonnyola
By: Joan Nakate, Journalists @New Vision

Kkampuni ya Vision Group y’emu kw’ezo ezesowoddeyo okulaba nga ng’ekwaasizaako obulabirizi bw’e Mukono mu nteekateeka ey’okusonda ensimbi ezigenda okutandika ku mutendera ogw’okubiri ogw’okuzimba lutikko.

Ensimbi ezibalirirwaamu obukadde 800 n’omusobyo ze zitunuuliddwa okutandika okuzimba bbuggwe n’ebisenge bya lutikko eno empya era ng’enteekateeka ey’omutendera guno ogw’okubiri yatongozeddwa ku lwomukaaga.

Rev Canon Abel Sserwanja Mmereewooma ng’ono ye ssaabakunzi w’enteekateeka eno ategeezezza ng’obulabirizi bwe butaddewo engeri ez’enjawulo mwe bugenda okuyita okukungaanya ensimbi ez’okuzimba ekkanisa nga muno mwe muli emisinde gi mubuna byaalo egyategekeddwa,egy’okubaawo nga 15 omwezi ogujja.....

Kagodo, Muyanja Sennyongo ne munnamawulire wa Vision Grp Teera Kkaaya

Kagodo, Muyanja Sennyongo ne munnamawulire wa Vision Grp Teera Kkaaya

Abanaagyetabamu ba kusasula emitwalo ebiri okugula emijoozi mwe bannaddukira.

Enkola endala gy'anyonyodde y’ey’okutambula mu bitongole eby’enjawulo okukuyega abantu abalina obusobozi nga kwogasse n’amakampuni okubakwasizaako ku mutendera guno gwe baatandiseeko.

Akulira Bukedde Fa ma Embuutikizi Ronald Ssebutiko ng’ayita mw'amukiikiridde Terah Kaaya akakasizza nga kampuni bw’eri eneetegefu okukolaganira awamu n’obulabirizi okuggusa omulimu guno mu ngeri ez’enjawulo omuli okubakolera obulango.

“Obulabirizi bugenda kuweebwangayo obudde okukyala mu pulogulaamu zaffe ez’enjawulo ku Radio zaffe okuli Bukedde Fa Ma embuutiki, Bukedde TV awamu n’olupapula lwa Bukedde okulanga pulojekiti eno.

Omulabirizi we Mukono, Rt.Rev. Kitto Kagodo ng'asmbula emisinde

Omulabirizi we Mukono, Rt.Rev. Kitto Kagodo ng'asmbula emisinde

Bino byatuukibwaako gye buvuddeko omulabirizi bwe yeesitula n’akyala ku kitebe kyaffe ekya Vision Group agikulira Don Wanyama n’asuubiza nti kkampuni eri wamu nabo era n’emisinde egigenda okubaayo omwezi ogujja, tugenda kugyetabamu butereevu.”Kaaya bw'agambye.

Omulabirizi w’e Mukono Rt Rev Enos Kitto Kagodo asiimye Vision Group n’abalala abasobodde okubayambako mu nteekateeka eno n’asaba abakkiriza bonna okubeegattako basobole okutandika omulimu guno mu bwangu.

Tags: