Poliisi ekunyizza Bad Black ku misango gy'okufera ssente

POLIISI ekunyizza Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black ku by’okufera ssente.

Poliisi ekunyizza Bad Black ku misango gy'okufera ssente
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Bad Black #kasalabecca

Eggulo ku Lwokusatu, Bad Black yeeyanjudde ku poliisi ya Jinja Road oluvannyuma lw’okufuna ekiwandiiko ekimuyita okugendayo yeeyanjuleyo ku misango gy’okufuna ssente okuva mu bantu mu ngeri ey’olukujjukujju.

Ono yatuuyanidde ku poliisi ng’amaze okukola sitaatimenti bwe yakitegedde nti bannamawulire bamulinze wabweru era n’alagira looya we okuvuga mmotoka agitwale ku mulyango gwa poliisi olwo n’afubutuka n’agyesogga.

Luke Oweyesigyire omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza nti, waliwo abantu okuva mu Amerika abawawaabira Badblack ku poliisi ya Jinja Road nga bagamba nti , baamusindikira ssente obukadde busatu n’ekitundu okubaako ebintu by’abafunira okuli ebizigo n’ebirala kyokka n’atakikola.

Agamba nti Bad Black yakkirizza omusango n’akkiriza n’okusasula ssente zino olwo poliisi kwe kumuta ku kakalu kaayo.