Mwana Muwala Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black ategeka mbaga era olukiiko olutongoza emikolo gye, lwa mwezi gujja.
Bad Black ng’ayita ku mitimbagano gye yategeezezza nti agenda kufumbirwa bba mu butongole mu bbanga eritali lya wala nti era baakubeera n’olukiiko lumu olw’abantu bonna nga batongoza okwanjula n’embaga yaabwe.
Olukiiko luno lwakubaayo September 20 ku bbaala ya Mezo Noir e Kololo. Bad Black yasabye abaneetaba mu lukiiko olwo okugoberera ennyambala gye baataddewo
ey’ebyeru n’ebiddugavu.