Omuwala attunka ne nnyina lwa ttaka okuli ekiggya

OMWANA ne nnyina battunka lwa kiggya ng’omuwala agamba nti yakiggalawo, terikuddayo kuziikako.

Naluyima
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMWANA ne nnyina battunka lwa kiggya ng’omuwala agamba nti yakiggalawo, teri
kuddayo kuziikako.
Maama agamba nti ye nga Nnamwandu ateekeddwa okulima ebiggya wabula buli lw’alinnyayo ng’omuwala amusiba. Sarah Naluyima 51, y’attunka ne nnyina olw’ekiggya ky’agamba nti jjajja we, omugenzi Fayirosi Najjemba yakimuwa ng’ayagala kukiggalawo kubanga bonna abateekeddwa okuziikibwawo baafa ne baggwaawo.
Kigambibwa nti Naluyima yakwata nnyina Mega Nabakula ne kitaawe omuto Eric Katamba n’abasibisa mu kkomera okumala wiiki ssatu ng’abavunaana okusaalimbira ku kiggya kye. Bino biri Bukolooto mu Kamunye zzooni mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y’e Kayunga. Naluyima agamba nti nnyina Nabakula yanoba ewa kitaawe, Dickson Ssemwogerere n’agenda n’afumbirwa n’azaalayo n’abaana kyokka yakomawo nga Ssemwogerere amaze okufa. Maama agamba nti bba Ssemwogerere azaala Naluyima teyakola bintu era ennyumba yagizimba ku ttaka lya nnyazaala nga n’ettaka eribakaayanya omugenzi Najjemba ye yaligula. Baasomye ekiwandiiko nga Naluyima
yaweebwa ekitundu ky’ettaka ekikunukkiriza mu yiika wabula n’akitunda kati kwe kwagala okwezza ebiggya nabyo abitunde.
Amyuka ssentebe wa LCI, Faraji Kibula yagambye nti LC yeddiza obuvunaanyizibwa bw’ekiggya nga buli ayagala okugendayo alina kuyita mu LC. Collins Kafeero avunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu e Kayunga yabalagidde beerondemu abakulembeze era ensonga bazitwale eri akola ku bintu by’abafu abalung’amye