Omuyimbi Alien Skin ayogedde ku kanyoolagano akaabaddewo ku Lwokubiri kwe yatomera mmotoka ya pulomoota Andrew Mukasa amanyikiddwa nga Bajjo.
Mu yintaviyu gy'akyasembyeyo okukola, Alien yakakasizza nti obulumbaganyi buno yabukoze mu bugenderevu.
"Omuntu bw'akukyawa awatali nsonga, olina okumuwa okumuwa 'level' n'okumulaga nti naawe toli mannyowenu ," Alien bwe yagambye.
"Bw'aba akulumba awatali nsonga, ng'ayomba, n'atuuka n'okuteekamu ssente mu kukulwanyisa, olina okumusalako katono n'obalaga n'okangamu."
"So, nnabadde mpitawo buyisi ne mmulaba era ekyo kye kyabaddewo," Alien bwe yagambye.
Ebikolwa bya Alien bibadde bivumirira nnyo ku mikutu gya yintaneeti, abantu bangi ne balaga obweraliikirivu nti ye n'abalenzi be basusse okukola ku bantu effujjo.
Wabula Alien agamba nti temweraliikirira kuttibwa kubanga alina okutendekebwa okumala mu by'okukola effujjo.