OLUTALO lwa Jose Chameleone ne Alien Skin terunnaggwa. Chameleone asuubizza obutazikiza okutuusa nga Alien Skin afunye empisa n’okukomya okuwalampa abamusingako.
Byatandika ng’eby’okusaaga, Chamilli bwe yali ayimba mu bbaala emu e Kawempe n’asiriikirizaamu olwo abamu ku bantu abaali mu bbaala ne bayimbawo akayimba ka Alien Skin aka ‘Kapati’.
Chamilli yabagamba obutaddamu kumuwaanira ‘buyimbi’ butasukka Uganda. Yali ayogera bino ng’eno abantu abamu bwe bamukwata obutambi oluvannyuma bwe baateeka ku mikutu gya ‘social media’ ne butuuka n’ewa Alien
Skin naye n’amwanukula nti ebiseera bye byaggwaako dda.
Alien ng’ali n’omuvubuka omu, yafulumizza akatambi ne bavuluga Chamilli nga bwe bamuyita kasikaati mbu anti ennaku ezimu amanyi okwambala engoye eziringa sikaati. Alien Skin yategeezezza nga bw’agenda okulabisa Chamilli ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.
Yeewaanye nti agenda kufutiza ffamire nnamba ne muganda we Pallaso amunoonya olw’okumumanyiira. Wano abavubuka ba Fangone kwe baayongerezza ne bawaga okulumba Chamilli akomye ebintu bye yeeyogeza.
Ne Chamilli bwe yabadde ku bbaala emu e Kololo, yalabudde Alien Skin n’abavubuka be nti agenda kubayigiriza empisa bakomye okwepampalika n’okubuukira buli gwe basanze. “Abavubuka hhenda kubabuulirira era mbambule
ekibawujja, empisa zaabwe embi zikome,’’
Chamilli bwe yagambye. N’ayongerako nti Poliisi bw’eba yabalemwa, ye ajja kubeekolerako kuba abasobola era tajja kussa mukono, okutuusa nga bayize empisa.