Omubaka akiikirira Makindye East mu Palamenti, Derrick Nyeko azadde bbebi kumpi ku lunaku lwe baamuzaaliraako n’abula okufa essanyu! Okusinziira ku bubaka bwe yawanise ku mukutu gwe ogwa Facebooka, waabadde wabula eddakiika mbale bubale naye ajaguze amazaalibwa ge leero ku Ssande October 22, 2023.
Nyeko n'omukyala nga bali ne Bakyagulanyi ku One Love Beach e Busaabala ku 'babyshower'
Nyeko kaabuze kata essanyu limutte oluvannyuma lw’okufuna bbebi omulenzi ne mukyala we Ruth Kirabo eyamwanjula mu January w’omwaka oguwedde nga 7.
Nyeko Culver Luke Ofumbi, lye linnya lye baatuumye bbebi. Bino byonna yabiwanise ku mukutu gwe ogwa Facebook leero essaawa 16 emabega, n’asiima mukyala we Kirabo olw’okumuwa ekitiibwa kya taata bwe yamuzaalidde omusika!
Omukwano gwabadde gubula kubasala mu kabu n'omukyala.
Akabaga k’okuteekateeka mukyala we okumwagaliza okuzaala okulungi yakategera ku One Love Beach Busaabala kyokka tekyategeerekese nnaku za mwezi na ddi lwe baakategeka wabula okuwanikayo ebifaananyi ebikakasa kino, nga bali n’omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ne mukyala we, Barbie Kyagulanyi.
Nyeko ne Kirabo tubaagaliza olugendo lw’obuzadde olulungi.
Egimu ku mikwano gyabwe egyabaddeyo nga babakwasa ebirabo.