Bya Benjamin Ssemwanga
ABATUUZE be Wabigalo-Kibuli mu Munisipaali ye Makindye bakubaganye ebikonde bwebabadde bafuna emmere omubaka waabwe Derrick Nyeko gy'abadde abagabira olwaleero
Nyeko ategeezezza nti abatuuze okulwanira ku ofiisi ye kyeyoleka nti gavumenti erina okuvaayo n'ekola enteekateeka enambulukufu eyokugabira abantu ekyokulya kubanga abantu embera gye balimu mbi ate nga okugabira abantu ssente
kuli mu kuggwa nga abasinga obungi mu konsistuency gyatwala tebannafuna ssente zino