Bya Ignatius Kamya
GRAVITY Omutujju akubye abadigize 'be Kajjansi omuziki n'abaleka nga bamutenda.
Ono ku Lwokubiri yabadde ku Geraldine Gardens e Kajjansi nga yeegatiddwaako Spice Diana ne bakuba abantu omuziki ppaka obudde kejjenge.
Gravity Ng'akuba Abadigize Omuziki
Abadigize Nga Bakyekola
Bakira Gravity asuulamu ennyimba ze okuli; Batutadde, Tusimbudde n'endala olwo abantu essanyu ne lijula okubatta.
Spice Diana eyasembyeyo ku siteegi yalinnyeko ku saawa 7:00 ez'ekiro wakati mu mizira egyamaanyi okuva mu bawagizi be obwedda abamulindiridde era yabakubye omuziki okutuusa ku ssaawa 8:00 olwono n'abaleka bagende beebakeko.