Akabaga kano keetabiddwako bapasita bangi omwabadde Imelda Kula, Henry Mutebi n'abalala bangi saako n'omubaka w'e Makindye mu Palamenti; East Derrick Nyeko.
Mu kwogera kwe Kayanja yeemulugunyizza ku b'omu nnyumba ye omuli omukyala we nnabaana okumulimba nga bwe waliwo emikolo gy'ekkanisa gy'asumba eya Lubaga Miracle Center Cathedral mu makaage kyokka gye byaggweeredde nga bamuleese ku kabaga k'amazaalibwa ge era wano mu ngeri y'okusaaga we yansinzidde okusaba bateekewo ekiragiro ekipya eky'e 11 ekigaana abaagalana okukwekanga ebyama kuba baakoze kinene okulaba nti abeera ku kabaga ye ke yebadde talina ky'akamanyiko.
'Happy birthday' Pastor Robert Kayanja.
Kayanja0011(1)