Kasalabecca

Namulindwa;Azzizza eyali bba mu kkooti

ENSONGA za Mary Flavia Namulindwa eyali omukozi wa Bukedde TV kati eyeegwanyiza ekifo ky’omubaka wa Palamenti ekya Gomba East ne bba Charles Kanyike eyamuzaalamu abaana babiri tezinaggwa. Amututte mu Kkooti Enkulu ng’ayagala nnyumba!

Kanyike ne Namulindwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENSONGA za Mary Flavia Namulindwa eyali omukozi wa Bukedde TV kati eyeegwanyiza ekifo ky’omubaka wa Palamenti ekya Gomba East ne bba Charles Kanyike eyamuzaalamu abaana babiri tezinaggwa. Amututte mu Kkooti Enkulu ng’ayagala nnyumba!
Omusango, Namulindwa yasooka kugutwala mu kkooti esookerwako e Mengo omulamuzi Yunus Ndiwalana n’amutegeeza nti gulimu ssente ezisukka obukadde 300 nga ye tasobola kuguwozesa era n’amuwa amagezi okugenda mu Kkooti Enkulu.
Ng’ayita mu bannamateeka be aba M/S Kizito Lumu & Co Advocates ku musango 1593/2025 oguva mu 172/2025, awadde ensonga ttaano lwaki ateekeddwa okubeera nannyini ttaka n’amayumba okuli n’amaka ebisangibwa e Masanafu Kinoonya zzooni mu Lubaga. Ensonga Namulindwa kw’ayimiridde;
Nze nnannyina ttaka lino n’ennyumba eziriko byange n’omwana wange.
Ettaka lyampeebwa Kanyike, baze gwe nazaalamu abaana babiri.
Oluvannyuma lw’okumpa ettaka lino, nassaako ennyumba z’apangisa n’okukulaakulanya ekifo kyonna.
Kanyike atandise okuntiisatiisa ng’angoba ku ttaka lye yampa era yapangisa ekibinja ky’abayaaye abangobaganya n’omwana wange kwossa abapangisa be nnali ntadde mu nnyumba zino. Bano era bantiisatiisa n’okuntuusaako obuvune singa nsigala ku ttaka lyange.
Newankubadde ngezaako okutaakiriza Kanyike obutakola bintu bya kika kino, tawulira ayongera kubikola ekindeetedde okwennyika mu bwongo n’okufiirwa ssente.
Yalaze ebibuuzo bibiri kw’asinziira okussaayo okwemulugunya kuno nti; Ddala ebintu ebyogerwako weebiri era biri mu katyabaga k’okwonoonebwa? Nti ddala! Yakomekkerezza asaba kkooti nti ddala bwe bibaawo, bissibweko ebiragiro ebikakali obutaddamu ku kozesebwa.BY’ATADDE MU MPAABA
l Mu mpaaba, yataddeko n’ebifaananyi by’ennyumba z’ayogerako ezisangibwa e Masanafu era ebifaananyi bino biraga embeera Kanyike mwe yamuweera ettaka lino n’oluvannyuma ng’amaze okukulaakulanya ekifo.
l Yataddeko n’obukakafu obwoleka nti Kanyike yamuwa ekifo kino ekyogerwako n’akikulaakulanya awatali nnusu ya Kanyike.
l Namulindwa era aleese obujulizi obukakasa nti ddala Kanyike yapangisa abayaaye abaalumba ekifo kye ne bamutiisatiisa.
Okwongera okukasa kkooti, Namulindwa agamba nti omwana waabwe abeere mu kifo kino nga tateekeddwa kutaataganyizibwa.
Namulindwa azze agugulana ne bba Kanyike era gye buvuddeko mu musango 0014/2024 ogubadde mu kkooti y’omulamuzi Yunus Ndiwalana e Mengo gwe yamuwawaabira ogw’obutalabirira mwana, yasaze bw’ati;
Kanyike waakuwanga emitwalo 50, buli mwezi ez’okulabirira omwana era waakuzisasula ng’akozesa enkola ya mobile money buli ng’ennaku 5 tezinnayita ku mwezi.
Abazadde bombi baaweereddwa obuyinza bwa kyenkanyi okukuuma n’okulabirira omwana.
Obuyinza bw’okulabirira n’okukuuma omwana ng’ali ku ssomero bwaweereddwa Namulindwa.

Tags: