Kasalabecca

Emizannyo gy'abaliko obulemu giyingidde olunaku olw'okusatu e Masaka

PULEZIDENTI w'ekibiina ekiddukanya emizannyo gy'abaliko obulemu mu ggwanga ekya Uganda National Paralympic Committee Hon. Mpindi Bumaali asabye  bannabyamizannyo abaliko obulemu okutwala ebyemizannyo nga omulimu okusobola okutumbuula embeera zaabwe ez'ebyenfuna.

Empaka z'okukasuka obuzito
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Egyazanyiddwa mu mpaka z'abaliko obulemu
Okukanyuga akazito (short put)
1. F46 Joash Ainebyona 8.20m
2. F46 Irampaye Foste  4.72
3. F44 Kinobe Wahabu 6.27
4. F44 Moize Paskari 5.42
Okukanyuga olunyago (Javelin)
1. Chebet charity 13.30m
2. Brenda Nabwire 13.10m
3. Diana Muwanguzi 10.25m
Showdown (Bawala)
Makerere university 11-18 MUBS 
Kyambogo university 16-14 Gulu university 
Balenzi
Makerere university 14-16 MUBS 
Kyambogo university 13-13 Gulu university 
Goal Ball
Kyambogo university 5-2 MUBS 
Makerere university 2-0 Gulu university 
PULEZIDENTI w'ekibiina ekiddukanya emizannyo gy'abaliko obulemu mu ggwanga ekya Uganda National Paralympic Committee Hon. Mpindi Bumaali asabye  bannabyamizannyo abaliko obulemu okutwala ebyemizannyo nga omulimu okusobola okutumbuula embeera zaabwe ez'ebyenfuna.

okukasuka obuzito

okukasuka obuzito


Bino Bumaali yabyogeredde mu mizannyo gyabaliko obulemu egigenda mu maaso mu kibuga Masaka nga giyingidde Olunaku olwokusatu. “ ebyemizannyo Kati gwafuuka mulimu gwenyini ogusasula ekiralu singa oba otaddemu amaanyi n'oguzanyira ku daala lyensi yonna”. Bumaali bweyagambye. 

Bumaali yayongeddeko nti nga ekibiina beetegefu okugenda mu buli kasonda k'eggwanga nga bafeffeta ebitone ebyenjawulo mu bantu abaliko obulemu yadde nga emirundi mingi ensimbi tezibasobozesa. “ abavubuka bangi abaliko obulemu abatafuna mukisa kulaga bitone byabwe, naye bwetutegeka emizannyo bwegiti mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo tuzuula abavubuka bangi naye olwebbula lyensimbi tuba tetusobola kutuuka ku buli omu.

Empaka z'obugaali

Empaka z'obugaali

Mu mizannyo egyazanyiddwa Olunaku lw'eggulo Ayuubu Kiruyi owa Kyambogo university yeyasinze Okukanyuga akazito mu mutendera gwa university ate Joash Ainebyona owa district ye Isingiro nanywa mu banne akendo mu kukanyuga olunyago nga Ono yakanyuze mmita 8.20 naddirirwa Foste Irampaye owa mmita 4.72.

Kyambogo University yeefuse emizannyo gya goal ball nga yakubye MUBS 5-2 ate Makerere university nekuba Gulu university 2-0 neyesogga oluzannya oluddako.

Emizannyo gyakukomekkerezebwa Olunaku olwenkya nomukolo ogwokugaba emidaali nebikopo.

Tags: