Kusasira yeepikira Bobi Wine mu lutalo lw'okuyimba, abayimbi abalala tayagala kumanya!...

Omuyimbi wa bbandi era omuwagizi wa Pulezidenti Museveni, Catherine Kusasira ategeezezza nti mwetegefu okwenyigira mu lutalo lw’omuziki n'omuntu omu yekka mu bayimbi b'omu Uganda. Omuntu ono ye Bobi Wine.

Kusasira yeepikira Bobi Wine mu lutalo lw'okuyimba, abayimbi abalala tayagala kumanya!...
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Catherine Kusasira #Bobi Wine

Omuyimbi wa bbandi era omuwagizi wa Pulezidenti Museveni, Catherine Kusasira ategeezezza nti mwetegefu okwenyigira mu lutalo lw’omuziki n'omuntu omu yekka mu bayimbi b'omu Uganda. Omuntu ono ye Bobi Wine.

Bino Kusasira yabyogeredde mu yintaviyu ku ttivvi emu n'agamba nti battle tasobola kugiwa muyimbi mulala okuggyako pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.

"Siyinza kwenyigira mu lutalo na muyimbi mulala yenna Munnayuganda okuggyako Bobi Wine.  Oyo yekka gwe nandyagadde okunyigira naye mu lutalo lw'okuyimba, " Kusasira bwe yagambye.

Kusasira okwogera bw'ati kiddiridde muyimbi munne owa bbandi Maureen Nantume okuvaayo wiiki ewedde n'alaga nti amwepikira mu 'battle' y'okuyimba kuba sitayiro y'omuziki gwe bakuba y'emu.