Omuyimbi wa bbandi Maureen Nantume alaze nti mwetegefu okwenyigira mu 'battle' y'ani asinga ne Catherine Kusasira essaawa yonna.
Yannyonnyodde nti bombi bayimba omuziki ogwefaananyiriza so nga n'abawagizi baabwe kyenkana be bamu.
Maureen agamba nti kyamagezi bombi okuvuganya singa omukisa gubaawo.
"Nandibadde mwetegefu okukola 'battle' ne Catherine Kusasira ekiseera kyonna. Ffembi tukola sitayiro y'emu ey'omuziki, kale sirina kumutya," Nantume bwe yategeezezza.