Ono yeegasse ku Nkumba University okusoma ddiguli mu bya bizinensi eya Bachelor of Arts in International Relations and Diplomacy.
Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde Kusaasira lwe yeesozze ekibiina omulundi gwe ogusooka era olwavudde mu kibiina n'agenda ku mukutu gwe ogwa Facebook n'agabana amawulire g'okuddayo ku ssomero ne mikwano gye ng'agamba nti yalabye nga kisaanidde omuntu okuba n'ebitabo era kye kyamuwalirizza okuddayo ku ssomero.
Kusaasira ng'ali ku ssomero
Kusaasira omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Kampala, yagambye nti yeebaza Katonda olw'olugendo lw'atandiseeko era asaba Katonda amuyambe alumalirize bulungi.
Bbo abawagizi be obwedda bawoza kimu, " Kusaasira weebale kusalawo, singa byonna bigenda bulungi n'otikkirwa osobola n'okufuuka munnabyabufuzi era omubaka wa Palamenti".
Kinnajukkirwa nti Kusaasira ssi ye muyimbi asoose okuvaayo n'addayo ku ssomero, banne okuli; Bobi Wine ( Pulezidenti wa NUP), Goeffrey Lutaaya, Ronald Mayinja, Jose Chameleon baddayo ne bongera ku bitabo.
Kusaasira tukwagaliza buwanguzi....