Catherine Kusasira omuwagizi wa gavumenti ya NRM amanyiddwa ennyo asabye pulezidenti wa NUP okwawula ebyobufuzi n’omuziki.
Kusasira alowooza nti Bobi Wine alina obuyinza okufuga abawagizi be, ababadde bamulumba mu lujjudde olw’ebyobufuzi.
"Bobi Wine alina okwawula ebyobufuzi ku muziki. Era alina okuyigiriza abawagizi be okwawula byombi, anti emiziki bizinensi yaffe, naye abamu ku ffe tubadde tutulugunyizibwa abawagizi be," Kusasira bwe yayogeddeko mu mboozi ey'akafubo ku ttivvi emu.