Kasalabecca

Fire Baby Winnie Nwagi asuubizza okukuba abawagizi be omuziki

Mwana muwala Winnie Nakanwagi abangi gwe beeyitira Winnie Nwaggie nga kati bamwongeddeko erya ‘Fire Baby’ asimbudde. Ategeezezza nti nga September 9, 2022, abawagizi be basuubire omuliro. Si guno okwokya, wabula omuliro gw’omuziki.

Fire Baby Winnie Nwagi asuubizza okukuba abawagizi be omuziki
By: Ssebanenya Emmanuel, Journalists @New Vision

Yeewaanye n’ategeeza nti abamulozezzaako bamutegeera kyokka n’abasaba okugenda okumweyongezza kubanga leero omuziki gwaleeta agutaddemu ebirungo buli muntu by'atasaanye kusubwa.

Fire Baby manya Winnie Nwaggi bino abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw'atuuzizza ku The Square okumpi ne Vision Group ku Mmande nga August 29, 2022.

Ayingiddewo nga yeesaze akajoozi akeeru ng’ate wansi ayambadde jjiini ya damegi eraga ‘ebithambi’ nga yenna atambula akumba n’okulumya abateesi okulaga nti ddala ‘Fire Baby’. Yabadde awerekerwako maneja we Gonzaga.

Eno abaddeyo n’aba KT Events and Beyond eya Musa Kavuma ne Swangz Avenue abategese ekivvulu kino nga bali wamu n’aba Jude Color Solutions ne Vision Group etwala ne Bukedde abamutaddemu ssente.

Musa Kavuma Ne Nwagi

Musa Kavuma Ne Nwagi

Eddie Ssendi omwogezi wa kkampuni ya KT Events yategeezezza nti Winnie Nwaggie muyimbi wa bulijjo kyokka olw’amaanyi gaatadde mu muziki, nabo basazeewo okumutegera ekivvulu ky’omuyimbi ali ku mutindo gw’ensi yonna.

Bataddewo ekifo ky’abakungu nga bagenda kunyumirwa omuziki ng’eno bwe beeriira obulamu kyokka n’abalala bonna baakuyisibwa ng’abakungu ate nga buli ayingira aweebwa ekirabo okuva mu Jude Color Solutions.

Benon Mugumya Ng'ayanukula Ebimu Ku Bibuuzo

Benon Mugumya Ng'ayanukula Ebimu Ku Bibuuzo

Dorah Namala owa Bukedde yategeezezza nti bazze bazimba Nwagi okuva mu mpaka za Coca Cola Rated Next nga tebasobola kumulekerera kati ng’atuuse ku buwanguzi.

Oluva e Lugogo bagenda ku Agip Motel e Mbarara ku Lwomukaaga ate ku Ssande babeere ku Maria Flo e Masaka.

Tags:
KT Events
Winnie Nwaggie