Eggulo mu kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo kaabadde keetalo kennyini. Aba Swangz Avenue be baabadde mu mitambo gy’okuzimba siteegi era we twatuukiddeyo nga bamaze okuzimba siteegi n’okusibayo agamu ku mataala era Julius Kyazze yalabiddwaako nga tava ku ssimu okulaba nga buli kintu kitambula bulungi.

Wano baabadde bazimba siteegi.
Byo ebyokwerinda byabadde gguluggulu. We bwazibidde eggulo ng’abakulu okuva mu bitongole by’abakuuma ddembe eby’enjawulo bali mu kutema mpenda ku ngeri gye bagenda okuwa abadigize obukuumi n’okulaba nga tewali bakola ffujjo, okunyaga abantu kisobozese buli muntu okunyumirwa endongo.

Siteegi bwaguuga gye baakoze.
Kkampuni ezitunda eby’okunywa n’okulya nazo zaasuze bulindaala nga zimaze okwekwata obufo n’okweteekateeka okuwa abantu ebintu ebiri ku mutindo. Aba KT Events ekulirwa Musa Kavuma baategeezezza nti Winnie Nwaggi asuze ali bulungi era mwetegefu okubakubira omuziki okuviira ddala ku nnyimba ze yasookerako okutuuka ku ziriko kati.
Kyokka alina banywanyi be abagenda okumuyimbirako okuggusa ekivvulu. Kavuma yategeezezza nti ggeeti ziggulwawo ku ssaawa 8:00 ng’abalina tikiti z’abakungu baakuyita mu mulyango gw’awansi ate abalala bayite waggulu okwewala ensindikagano n’akavuyo.

Julius Kyaze Owa Swangz yabadde mu keetalo.
Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde ate KT Events ne Swangz Avenue be bagasse obwongo okulaba nga bategeka ekivvulu eky’omulembe.